Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka 2022: Laba ebifaananyi ebyenjawulo

0
Advertisement
Kabaka ng’asimbula abaddusi.

Nnamungi w’omuntu yeyiye mu Lubiri okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka 2022.

Abaddusi baatandikidde mu kukola dduyiro nga emisinde teginnatandika.

Advertisement
Kabaka nga awereddwa engabo y’okulwanyisa Mukenenya okuva eri Ssenkulu w’ekitongole ki UNAIDS mu nsi yonna, Winnie Byanyima(ali mubyeru).

Ssaabasajja Kabaka oluvannyuma asimbudde abaddusi mu buwanvu obwenjawulo wakati mu nteekateeka y’okulwanyisa akawuka akaleeta Mukenenya nga bwe tujjaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 67.

Ssenkulu w’ekitongole ki UNAIDS mu nsi yonna, Winnie Byanyima nga awayaamu n’Omulangira David Wassajja.

Ssenkulu w’ekitongole ki UNAIDS mu nsi yonna, Winnie Byanyima yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okutegeka emisinde gino egigendereddwamu okulwanyisa akawuka ka Mukenenya okulaba nti 2030 wanatuukira nga kafuuse lufumo.

Abantu ba Kabaka nga bakola dduyiro nga emisinde teginnatandika.
Nnamungi w’omuntu yeyiye mu Lubiri okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka 2022.
Nnamungi w’omuntu yeyiye mu Lubiri okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka 2022.
Essanyu ly’okulaba ku Mutanda!
Katikkiro Charles Peter Mayiga nga awuubira ku bantu ba Beene mu Lubiri.
Katikkiro ne Dr Winnie Byanyima nga bawayaamu.
Kabaka (wakati) nga afuna omujoozi gw’emisinde.
Omuntanda nga asimbula abantube.
Kabaka ne Maama Nnaabagereka.
Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO