Kabaka asiimye okuggulawo empaka z’Ebika bya Baganda

0
Advertisement

Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo empaka z’Ebika bya Baganda, nga 28th May 2022, ku kisaawe kya Kasana – Luweero mu Bulemeezi.

Bino byogeddwa Minista w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Okwewummuzaamu Owek. Henry Sekabembe Kiberu ku Lwokuna e Bulange- Mengo

Advertisement

“Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda nga 28,  omwezi guno ogw’ okutaano, omwaka guno gwennyini mu ssaza lye erye Bulemeezi e Kasana Luweero nga aggulawo empaka z’ebika z’omwaka guno, ttiimu ezigenda okuggulawo tujja kuzibategeeza mu bwangu ddala nga tumaze okwetegereza ensonga eziwerako,” Owek. Ssekabembe bw’agambye.

Okusinziira ku Ssekabembe, empaka zino zigenda kutegekebwa mu bbago eppya eryavudde mu kunoonyereza okwakoleddwa akakiiko akaweebwa omulimu gw’okuzza ekitiibwa, ettutumu n’omutindo gw’ empaka zino akakulirwa Kabugo Julius.

Owek. Ssekabembe agambye nti ebika 30 byebimaze okwewandiisa mu nteekateeka eno era wabaddewo ensisinkano n’enkiiko eziwerako okuddabulula ekikopo kino.

Minista Henry Ssekabembe. EKIF| Gambuuze.

Ono annyonnyodde  obukulu bw’ekikopo kino nategeeza nti kye kyokka ekyetabwamu bazzukulu na Nambi okuviira ddala ku bukulembeze waggulu okutuuka wansi ku bazannyi.

Minisita Ssekabembe akunze abantu ba Buganda yonna gyebali okuvaayo okuwagira enteekateeka eno era bakomye okunenya n’okwekubagiza basobole okuzzaawo ekitiibwa n’ettutumu ly’ ekikopo kino nga bwekyali mu myaka gya 90.

Owek. Henry Sekabembe Kiberu, era ategezeza nti Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, esiimye nekolamu enkyukakyuka mu  lukiiko  olugenda okuddukanya empaka zino, era neyebaza nyoo  bonna ababaddeko kuba baweerereza mu kiseera ekijjudde okusomoozebwa.

Kati olukiiko olupya lukulirwa Ssentebe, Katambala Hajji Sulaiman Magala, omumyuka we Asooka ye Hajji Jamir Ssewanyana ng’ono avunaanyizibwa ku mipiira ogw’ebigere, Omumyuka ow’okubiri, Dr. Sarah Nkonge ng’ono avunaanyizibwa ku mupiira gw’engalo oba okubaka.

Omuwandiisi w’olukiiko ye Gerald Katamba ate Omuwanika ye Micheal Nsereko, avunaanyizibwa ku bannamikago n’abavujirizi ye Rebecca Nassuna, Clive Kyazze ne James Ntambi bavunaanyizibwa ku mawulire ate Manisur Kabugo wa kikugu mu mupiira gw’ ebigere ate Kaala Rose wa kubaka.

Minisita Ssekabembe agamba nti emyaka egisoose 3, Abataka bagenda kukiikirira naye mu maaso awo baveeko era ng’omukiise w’abataka ye  Nakigoye Nabimba ate alina okulondoola buli kimu okuteekebwa mu nkola ye Julius Kabugo olwo Catherine Nakigudde akiikirire abakyala.

Bya Francis Ndugwa, Bulange – Mmengo

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO