
Omulangira David Kintu Wasajja asabye abavubuka wonna mu Buganda okunyikira okukola emirimu egisobola okuzza Buganda ku ntikko awamu n’okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.
Omulangira Wasajja yabadde asisinkanye olukiiko olufuzi olw’ abavubuka mu Buganda olwa Buganda Youth Council ku Lwokubiri mu Masengere e Mmengo.
“Ekitiibwa kya Buganda kiri mu bantu ba Ssaabasajja, tetuyinza kwenyumiriza mu bizimbe byetulaba wano nga abantu baffe tebali bulungi, tulina okubazimba mu bulamu bwabwe, okubeera obulungi. Mwebale ensonga za Buganda butazisuula muguluka kubanga emyaka gyammwe waliwo bingi ebyandibabuziza,” Omulangira bwe yagambye.
Ono abeebazizza olw’ obumu bwebolesa mu buweereza okutwala abavubuka ba Buganda mu maaso kyokka nabasaba okwewala ebisomoozo okubaggya ku mulamwa wabula nga abakulembeze bateme empenda engeri y’okubivuunuka okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Baker Ssejjengo amwanjulidde Alipoota omuli ebituukiddwako era nalambulula nebyo ebyokusibwako essira omwaka guno okulaba nga Abavubuka bongera okuyitimuka wonna mu Buganda.