Nnaabagereka simusanyufu olw’amaka agatabanguka buli lukya

Bino Nnaabagereka abyogeredde Bulange e Mmengo bw’abadde atongoza enteekateeka y’abakulembeze b’ekibiina ky’abakyala ba ‘Mother’s Union’ mu Buganda ey’okusomesa abafumbo ku ngeri gyebalina okutambuzaamu amaka.

0
Advertisement
Nnaabagereka Sylvia Nagginda.

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abo bonna abaagala okuyingira obufumbo okuwaayo ebiseera babutegeere era babwetegekere kiyambe ekitiibwa ky’obufumbo okuddawo era n’abaana abakulira mu maka gabwe okubaamu empeke.

Bino Nnaabagereka abyogeredde Bulange e Mmengo bw’abadde atongoza enteekateeka y’abakulembeze b’ekibiina ky’abakyala ba ‘Mother’s Union’ mu Buganda ey’okusomesa abafumbo ku ngeri gyebalina okutambuzaamu amaka.

Advertisement

“Ffe aba Mother’s Union kitukakatako okulaba nti enteekateeka y’okubuulira abaana abagenda mu bufumbo tugiteekamu amaanyi mangi ddala abaana basobole okutegeera, okwetegereza era n’okweteekerateekera ekyo kyebagendamu,. ” Nnaabagereka Nagginda bw’annyonnyodde.

Nnaabagereka agamba nti ensangi zino abaagalana bangi bagenda mu bufumbo nga tebamaze kweteekateeka bulungi nga balowooza nti omukwano gwebalina gumala nebeerabira ensonga enkulu ezitambulirako obufumbo n’amaka.

Maama Nnaabagereka Nagginda alaze okutya ku budde obusomesebwamu abafumbo mu kkanisa nagamba nti akadde katono nasaba kongezebweko okusobozesa abeetegekera obufumbo okwefumintiriza era baggumire mwekyo kyebagendamu kiyambe okunyweza ekitiibwa ky’obufumbo.

Nnaabagereka Nagginda era simusanyufu olw’amaka agatabanguka buli lukya olw’abazadde ne bannaddiini okulemererwa okubuulirira abaana abalenzi n’abawala nga tebanaba kuyingira bufumbo kyagamba nti kyekivuddeko ekitiibwa ky’obufumbo okufa.

Nnaabagereka abakyala abasibiridde entanda bulijjo okwekwata ku ssaala nga baliko okusomoozebwa kwebasanze nasanyukira enkola y’okuzza obuggya okubuulirira abafumbo ababeera bagenda okufumbirigana.

Ye Owek. Nankindu agambye nti abakyala bano aba Mother’s Union bakoze emirimu egigasa ensi naddala bwekituuka ku ntambuza y’amaka wakati mu bugumiikiriza obutagambika ekiyambye okutwala eggwanga mu maaso.

Minisita Nankindu agasseeko nti obwegendereza  n’okwagala ebiri mu bakyala ba Mother’s Union bukoze kinene okunyweza amaka muggwanga nga balambika bannabwe ku ngeri gyebasaanye okukwatamu obufumbo ekitadde ettofaali mu nteekateeka za Buganda ez’enjawulo nga okulwanyisa akawuka ka Mukenenya.

Okusinziira ku Minisita Nankindu waliwo Ttabamiruka w’ Abakyala ng’ennaku z’omwezi 13/ 05/2022 nga wakuyindira ku Imperial Royale era Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagenda okubeera omugenyi omukulu.

Omukolo guno gwatandise nakubuulira okwakulembeddwamu Faith Nakitende Luwalira ng’ono asabye abakyala okusitukiramu bakole buli kisoboka bazze eggwanga ku mulamwa kuba buli kimu kirabika nga kisobye.

Nakitende era abasabye okutumbula ennono n’obuwangwa kuba bino bikola kinene okunyweza amaka n’obufumbo  ebiyita mukugezesebwa akaseera kano.

Akulira ekibiina kya Mother’s Union mu Buganda, Josephine Nakijoba Kasaato agamba nti baliwamu ne Nnaabagereka era bakukola buli kimu okutumbula embeera z’abakyala n’abaana okulaba nga batumbula amaka.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO