Ebipya ku musango gwa ababaka Ssegirinya ne Ssewanyana

0
Advertisement

Omulamuzi wa Kkooti esookerwako e Masaka, Christine Nantege ku Mmande yasindise ababaka Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana mu kkooti enkulu batandike okwewozaako ku misango gy’okutta Joseph Bwanika eyatemulwa wakati mu ttemu ly’ebijambiya elyakyaaka ennyo omwaka oguwedde mu bitundu by’e Masaka ne Lwengo.

Omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka yategeezezza kkooti nga bwebalina omuntu omulala  Wilson Ssenyonga gwebagasse ku fayiro eno nga kigambibwa nti ono ababaka okuli Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana bamuwa ssente nebamulagira atte Joseph Bwanika.

Advertisement

Omu ku bannamateeka b’ababaka bano Erias Lukwago yategeezezza nti bazze basuubira abantu baabwe okweyimirirwa kuba emyezi 6 egiragirwa mu mateeka omuntu okubeera ku alimanda ku musango guno giweddeko nga tewali nsonga lwaki basigala mu nkomyo.

Erias Lukwago agamba nti beewunyiza okulaba nti ate oludda oluwaabi lugattako  omuntu omulala nga Ssenyonga  agambibwa okutta Joseph Bwanika ku biragiro by’ababaka bano oluvannyuma lw’okubasisinkana ku bbaala ya Happy Boys mu Ndeeba.

Lukwago agamba nti oludda oluwaabi lulemeddwa okunnyonnyola engeri Bwanika gyeyattibwamu kuba tebamanyi oba  Ssenyonga yatuga mutuge oba yakozesa kissi era tebamanyi oba yamutta namuziika bw’omu.

Omuloodi agattako nti kibeewunyisa okulaba nti Bwanika eyattibwa mu kitundu kye Lwengo yali tamanyise era nemu kkooti tebalabayo wadde ow’oluganda lwe  era nebyaliwo mu nsisinkano mu Ndeeba wakati wa  ababaka ne Ssenyonga tebyogerwako wadde ssente zebamuwa okusobola okulwanirira obuwanguzi bwabwe nabwo obutayogerwako.

Maama w’omubaka Ssegiriinya nga abaddewo ku kkooti eno, Justine Nakajumba alaze obutali bumativu ku bibadde mu kkooti nategeeza nti Ssenyonga mupange nga aleeteddwa gavumenti okwongera okukuumira mutabani we mu nkomyo.

(Gambuuze)

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO