Biibino ebiteeso ebiyisiddwa olukiiko lwa Buganda olwa 29 olutuula olwokubiri

Mu Lukiiko lwe lumu, Minisita w’Emirimu egy’enkizo, Owek. David Mpanga asomye alipoota ku kunoonyereza kwe bakoze n’akakiiko ke ku nsonga z’ettaka, ebivaako endooliito, n’ebirina okukolebwa okumalawo enkaayana zino.

0
Advertisement

Olukiiko lwa Buganda olubadde lukubirizibwa omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda,  Owek. Ahmed Lwasa lukubaganyizza ebirowoozo ku bigenda mu maaso mu ggwanga era ne lubaako n’ebiteeso bye luyisizza.

Katikkiro ayogedde ku nsonga eziwerako omuli, Uganda okukola ekisoboka edde mu mukago gw’ensi yonna ogw’abatunda emmwanyi, avumiridde ebikolwa by’okutulugunya abantu ebiri mu ggwanga.

Advertisement

Mu Lukiiko lwe lumu, Minisita w’Emirimu egy’enkizo, Owek. David Mpanga asomye alipoota ku kunoonyereza kwe bakoze n’akakiiko ke ku nsonga z’ettaka, ebivaako endooliito, n’ebirina okukolebwa okumalawo enkaayana zino.

Ba Ssentebe b’Obukiiko bw’Olukiiko banjudde alipoota eziraga bye baazudde mu kulambula pulojekiti ez’enjawulo ezikolebwa Minisitule z’Obwakabaka.

1). Owek. Xavier Ssentamu, akakiiko k’ettaka, obulimi, n’Obutonde bw’ensi.

2). Owek Geoffrey Kironde Kisuule, akakiiko k’ebyobuwangwa ennono n’obulambuzi .

3). Owek. Isaac Mpanga, akakiiko k’ebyamateeka, Gavumenti ez’ebitundu, amawulire, n’Olukiiko.

4). Owek. Richard Kabanda, akakiiko k’ebyobulamu.

5). Owek. Mulwana Kizito amyuka Ssentebe w’akakiiko k’ebyensimbi, okuteekerateekera, ebyenfuna, n’okusiga ensimbi.

6). Owek. Cotilda Nakate, Ssentebe w’akakiiko k’ebyenjigiriza, abavubuka, n’okwewummuzaamu.

Olukiiko luyisizza ebiteeso bino wammanga;

A). Olukiiko lwebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okulabikako eri Obuganda ku mupiira ogw’akamalirizo ogw’amasaza nga 5 Mugulansigo, era lukulisizza ttiimu ezaatuuka ku lusamba lw’akamalirizo ne lukulisa Buddu olw’obuwanguzi.

B) Olukiiko lusabye ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority kizze Uganda mu kibiina ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku mmwanyi ekya International Coffee Organisation.

C) Olukiiko luyisizza ekiteeso nga lukubiriza abantu bonna okusigala nga balima emmwanyi nga Uganda bweyongera okulwanirira omwagaanya okutunda emmwanyi nga zirinnyisiddwa omutindo.

D) Olukiiko luvumiridde ebikolwa byonna ebitulugunya abantu n’okutyoboola eddembe ly’obuntu era Olukiiko lusabye Gavumenti eyaawakati ewozese abo bonna abeenyigidde mu kutulugunya n’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

E) Olukiiko luyisizza alipoota y’ensonga z’ettaka mu Buganda ng’ekiwandiiko ky’Olukiiko lwa Buganda ekitongole era ne lusemba ekiwandiiko kino okugabirwa abaami b’Obwakabaka okuviira ddala ku mutongole okutuuka ku Ssaza. Wamu n’eri ababaka ba Palamenti abava mu Buganda.

F) Olukiiko luvumiridde abo abagezaako okuggyawo ettaka lya mayiro n’ebyo byonna ebigezaako okusaabulula amateeka agazzaawo Obwakabaka, awamu n’endagaano Pulezidwnti gye yakola ne Kabaka.

G) Olukiiko lwanirizza alipoota z’obukiiko bw’olukiiko ezirimu ensonga ezaava mu kulambula emirimu egikolebwa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka era ne lusemba zanjulibwe mu Kabineeti zongere okwekenneenyezebwa ebirowoozo ebizirimu.

(Bya Gerald Mulindwa – Bulange, Mmengo)

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO