UNESCO erambudde amasiro g’e Kasubi  

Owek Kyewalabye asinzidde mu nsisinkano eno nategeeza nti  omulimu gw’okuddaabiriza amasiro okutunkana n’omutindo gw’ensi yonna gutambula bukwakku  era mu kiseera ekituufu gwakugyibwako engalo.

0
Advertisement

Omukungu wa UNESCO avunaanyizibwa ku ttundutundu ly’obuvanjuba bwa Africa, Prof Hubert Gijzen alambudde omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi we gutuuse n’atenderezza ebituukiddwako.

Gijzen  alambuziddwa Minisita w’obuwangwa, Amasiro n’embiri, olulimi awamu n’ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male awamu ne ssentebe w’olukiiko oluzzaawo amasiro gano, Owek. Kaddu Kiberu, avunaanyizibwa ku nteekateeka y’okugazimba Johnson Nsubuga awamu n’abalala.

Advertisement

“Azze okulaba omulimu gw’okuzzaawo Muzibwazaalampanga we gutuuse, asanyuse olw’omulimu ogukoleddwa era njagala okutegeeza Obuganda nti guno omwaka tusuubira amawulire ag’essanyu nga gukwasiddwa Ssaabasajja Kabaka.”

Okusinziira ku Kyewalabye, wadde abantu babadde beebuuza amasiro lwe ganaggwa naye n’ategeeza nti kino si kizimbe kya bulijjo oba ensiisira ennene wabula ekifo ekiraga obuwangwa bwaffe n’ennono mu kuzimba n’okutereka ba Ssekabaka.

Ono annyonnyodde nti buli kalombolombo kagobereddwa era ng’ebimu bibaddemu okunoonyereza kuba Buganda tefunangako muliro munene mu byafaayo nga gwokezza n’okusaanyaawo ennyumba eno.

Owek Kyewalabye asinzidde mu nsisinkano eno nategeeza nti  omulimu gw’okuddaabiriza amasiro okutunkana n’omutindo gw’ensi yonna gutambula bukwakku  era mu kiseera ekituufu gwakugyibwako engalo.

Ye Prof. Hubert Gijzen Regional Director General wa UNESCO mu East Africa  asiimye omulimu ogukolebwa Obwakabaka okulaba nga buzzaawo ekifo ekyenkizo era ekyennono ky’agambye nti kyakugatta ettoffaali ddene mu kisaawe ky’ebyobulambuzi mu ggwanga ate n’ensi okutwaliza awamu.

Kinajjukirwa nti Amasiro g’e Kasubi gaakwata omuliro nga March 16, 2010, era Obwakabaka bwatandikirawo enteekateeka z’okugazzaawo ng’okusinziira ku bavunaanyizibwa ku mulimu guno, akadde konna gagenda kukwasibwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

(Bya Francis Ndugwa)

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO