Omusumba Paul Ssemwogerere ye Ssaabasumba w’e Kampala omujja

Oluvannyuma lw’okufa kwa Ssaabasumba Lwanga, Omusumba Ssemwogerere yalondebwa okubeera omukuumi w’essaza lino okutuusa lw’alondeddwa okumuddira mu bigere.

0
Advertisement

Omusumba w’essaza ly’e Kasana – Luweero, Paul Ssemwogerere alondeddwa Ppaapa Francis XVI ku bwa Ssaabasumba bw’essaza ekkulu ery’e Kampala okudda mu bigere bya Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga eyafa gyebuvuddeko.

Kino kirangiriddwa mu lukiiko lwa bannamawulire olutudde ku Lutikko e Lubaga ku Lwokuna.

Advertisement

Oluvannyuma lw’okufa kwa Ssaabasumba Lwanga, Omusumba Ssemwogerere yalondebwa okubeera omukuumi w’essaza lino okutuusa lw’alondeddwa okumuddira mu bigere.

Omusumba Ssemwogerere y’ani?

Paul Ssemwogerere yazaalibwa nga  June 30, 1956 e Kisubi,  ku luguudo oludda e Ntebe. Emisomo yagitandikira ku ssomero lya Kigero Primary School nga tannatwalibwa ku Kisubi Boys. Oluvannyuma yeegatta ku ssomero lya St. Maria Gorreti Senior Secondary School- Katende, gye yamalira ssiniya eyookuna.

Mu 1976, Ssemwogerere n’abalala 7 be bayizi abaasooka okusomera mu St. Mbaaga Seminary  e Ggaba. Eryatandikibwawo okubangula abasajja mu bwa Faaza.

Mu mwaka gwa 1978, Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga yaweereza Ssemwogerere  ku Ssettendekero wa  Saint Francis de Sales Seminary e Milwaukee, Wisconsin, mu Amerika n’atikkirwa ddiguli y’eddiini mu 1982.

Ng’ennaku z’omwezi 21 Novemba, 1981 ono yaweebwa obuseminariyo Ssaabasumba Rembert George Weakland,  eyali akulira essaza lya Milwaukee.

Yafuuka  Faaza nga June 3, 1983 e Kampala nga buno bwamuweebwa Kalidinaali Nsubuga. Ono yatandika okuweereza nga Faaza e Kampala okutuusa mu 2008 lwe yalondebwa okubeera Omusumba w’essaza lya Kasana – Luweero.

E Luweero, Ssemwogerere yatuuzibwa Ssaabasumba Lwanga eyali  ayambibwako Kalidinaali Emmanuel Wamala, Ssaabasumba w’e Sant’Ugo, Paul Tschang In-Nam, Titular Archbishop ow’e Amantia  n’omubaka wa Ppaapa eyali mu ggwanga ekiseera ekyo.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO