Prof. Kanyeihamba atwala Museveni mu kkooti

Kanyeihamba ayise mu bannamateeka be abakulembeddwa  Omuloodi Erias Lukwago n’agamba nti Pulezidenti Museveni eggwanga takyalitambuliza ku mateeka.

0

Eyaliko omulamuzi wa kkooti ensukkulumu, Prof. George Wilson Kanyeihamba, agenda mu kkooti  okuwakanya ekya Pulezidenti Yoweri Museveni okuggyawo okweyimirirwa eri abo ababeera bazizza emisango eminene.

Kanyeihamba ayise mu bannamateeka be abakulembeddwa  Omuloodi Erias Lukwago n’agamba nti Pulezidenti Museveni eggwanga takyalitambuliza ku mateeka.

“Nsazeewo oluvannyuma lw’okwebuuza ku famire yange. NRM tekyafugira ku mateeka naye kati eyambibwako emmundu.” Kanyeihamba bw’ategeezezza bannamawulire ku Mmande ku makya.

Omulamuzi Kanyeihamba agamba nti Pulezidenti Museveni okuggyawo okweyimirirwa, ky’alina okusooka okukola kwe kuggya Uganda mu mikago n’endagaano zonna z’erina n’amawanga amalala agakkiririza mu kweyimirirwa, bw’aba ayagala okugenda mu maaso n’entegeka zino.

Mu kwogerakwe, Pulezidenti Museveni yagamba nti tekisoboka kuwa bateeberezebwa kuzza misango gya butemu kweyimirirwa ate nga be bagambibwa okukolako obutemu bo bafu era nti kibeera tekikola makulu.

“Sigenda kukkiriza bya kuyimbulwa ku kakalu ka poliisi oba aka kkooti ku butemu. Ng’enda kutuula ne Ssaabawolereza wa gavumenti tulabe bwe tukomya ekintu kino.” Museveni bwe yagamba.

Kino kyatanula bannabyabufuzi, bannamateeka n’abatunuulira ensonga ne bategeeza nti kino kikyamu kuba okusaba okweyimirirwa ddembe lya buntu eriri mu Ssemateeka, kuba abantu abasinga bazuulibwa nga baba balangibwa bwemage.

(Bya Ssemakula John- Kampala)

KAMPALA BUSINESS RADIO