Owe Mankidye afiiridde mu kadukulu ka poliisi e Masaka

0

Police e Masaka ebakannye nokunonyereza ku muvubuka eyafiiridde mukaduukulu kaayo nga bakamutuusa. Ono ategerekese nga ye Ronald Kyeyune myaka 30, nga yakwatiddwa agezaako okubba emottoka ya Rev. Fr Mugisha Richard akolera mu Parish ye Bisanje.

Rev. Fr. Mugisha Richard ategezeza abamawulire nti omusajja ono yalinnye ekikomera nagwa munda era nayita mu bbaati lya ‘garage’ nayingira mu motoka okugezaako okujitwala.

Agamba nti omu kubalabirira awaka yaggudewo nga awulidde engombe ze motoka nga bamannyi nti Father alina kyabadde, abamu kubakuuma ekyalo kwekujja era bagenze okutuuka ngomuntu ali mumottoka tebamutegera nebamuteebereza okuba omubbi era nga aliko banne bakolagana nabo.

Omwogezi wa poliisi mu ‘Greater’ Masaka Afande Mohammed Nsubuga ategezeza nga bwebasobodde okunona omuvubuka ono wabula babadde bakamutuusa mu kaduukulu embeera netabuuka kwe kumuddusa muddwaliro era yafiridde mukuubo nga kati omulambo gwe gukumibwa muggwanika e Mulago(Masaka).

Omu kubatuuze eranga yekkansala wa bakadde mu division ya Kimannya –Kaboneera atenga yakulira ebyokwelinda by’ekyalo kino ekyebisanje, Joseph Mutayomba ategezeza nga omuvubuuka ono bwatali mutuuze kukyalo kino eranga endagamuntu ye eraga wa mu bitundu bye Makindye.

KAMPALA BUSINESS RADIO