Kabaka akoze emikolo egikulembera okumaliriza amasiro

Era mu mikolo egy’enjawulo Kabaka gy’akoze obuvunaanyizibwa bwe obumu abwawulizzaako Omugabe we Omulangira Daudi Chwa  ng’ono mwana w’Omulangira Micheal Ndawula Omwana wa Ssekabaka Muteesa II.

0
Advertisement

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II akoze emikolo egy’Obuwangwa egikulembera omulimu gw’okumaliriza okuzzaawo ennyumba Muzibwazaalampanga mu masiro g’e Kasubi enkya ya leero ku Lwokuna.

Okusinziira ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, Kabaka yennyini awanise ebizizi bisatu ebikulu ebisookerwako mu bizizi byonna ebyetoolodde eddaali mu nnyumba Muzibwazaalampanga.

Advertisement

Owek. Mayiga annyonnyodde nti Omutanda alinnye amadaala okukkaatiriza obukulu obw’omulimu ogwakolebwa Bajjajjaabe okuzimba ennyumba Muzibwazaalampanga era bw’atyo n’awanika ebizizi bino.

“Beene atuuse mu masiro e Kasubi nga tebunnasaasaana nga n’enjuba tennavaayo okusinziira ku bulombolombo nga bwe bwalung’amiziddwa era atuukidde mu nnyumba Kajaga omubeera Abagiriinya abavunaanyizibwa mu kuwunda ebizizi, n’akonkoma ku luggi era  n’ategeeza Abagiriinya abali ku mulimu ogwo nti obudde butuuse.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II ng’alinnya amadaala agamutuusa mu kasolya ka Muzibu-Azaala-Mpanga okuwanikayo Ebizizi Ebisatu eby’Enkizo.

Era mu mikolo egy’enjawulo Kabaka gy’akoze obuvunaanyizibwa bwe obumu abwawulizzaako Omugabe we Omulangira Daudi Chwa  ng’ono mwana w’Omulangira Micheal Ndawula Omwana wa Ssekabaka Muteesa II.

“Ssaabasajja Kabaka akutte ekizizi ekisooka n’akissa ku mutwe gw’Omulangira Daudi Chwa  era Omulangira n’atebatteba okwolekera ennyumba Muzibwazaalampanga nga Ssaabasajja amuvaako emabega. Omulangira, abagiirinya bamulaze eky’okukola n’alinnya mu kasolya n’atuusa ekizizi ekisookedde ddala, oluvannyuma Ssaabasajja Kabaka n’agenda okumaliriza omukolo guno ye kennyini.” Katikkiro Mayiga bw’alambuludde.

Owek. Mayiga agamba nti omukolo guno mukulu nnyo mu Buganda era ng’empagi Ssedugge  oba Sserugattika yatuusiddwa mu masiro e Kasubi era nayo abagivunaanyizibwako bagyebagazze nga Ssaabasajja Kabaka abeegese amaaso n’ewangibwa mu masiro e Kasubi.

Mayiga annyonnyodde nti Abataka ab’obusolya ababaddewo ku lw’ensonga eno kubaddeko; Omutaka Muteesaasira ow’Engo ne  Kasujja Kyesimba ow’Engeye, olw’ensonga nti okusereka kwennyini kugenda kukolebwa Wabulaakayole ng’ono muzzukulu wa Kasujja Kyesimba e Busujju ate okuwumba kukolebwa Abagiriinya bazzukulu ba Muteesaasira.

Ku mukolo guno Kabaka awerekeddwako, Owek. Kaddu Kiberu, Minisita Kyewalabye Male awamu n’abantu ba Beene abakwatibwako ensonga eno.

Beene w’akoledde omukolo guno nga Katikkiro Mayiga yaakamala okutegeeza Obuganda ng’amasiro bwe gagenda okutandika okuserekebwa akadde konna oluvannyuma lw’okugalambula wiiki ewedde n’akakasa nti buli kimu kikoleddwa wakati mu kugoberera obuwangwa n’ennono.

Katikkiro Mayiga yategeeza Obuganda nga omulimu guno bwe gutali mwangu kuba si kusereka nsiisira nnene  ng’abamu bwe balowooza naye gulina okukolebwa mu kitiibwa kyago n’okugoberera okuwabula okuva mu bika n’abantu ab’enjawulo abakwatibwako ensonga zino.

Amasiro g’e Kasubi mwe muli amasiro ga Bassekabaka ba Buganda abawerera ddala 4 era nga  gaakwata omuliro nga March 16, 2010 era okuva olwo enteekateeka z’okugazzaawo zizze zitambuzibwa.

(Bya Ssemakula John -Kampala).

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO