Waliwo abakwatirwa Buganda ensaalwa olw’okulaga Kabaka omukwano – Owek. Mayiga

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde mu Bulange bw’abadde atikkula  Oluwalo okuva mu ggombolola ez’enjawulo eziri mu Buddu ku Lwokubiri.

0

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga agamba nti waliwo abantu abakaayirira kaamulali gwe batalidde nga bakwatirwa abantu ba Kabaka ensaalwa buli abantu ba Buganda lwe bavaayo okugondera Kabaka ne bakola by’abagambye n’ebyo by’atalagidde.

“Abantu bwe batoola ssente eziyambako okutambuza emirimu, waliwo abakwatirwa ensaalwa naye waliwo omuganda w’ayogerera ku kajanja akakaabya emperekeze nti si ggwe gwe bawasizza ekikukaabya kye ki? Ndowooza mwe ab’e Buddu munaabagamba bakomye akajanja.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde mu Bulange bw’abadde atikkula  Oluwalo okuva mu ggombolola ez’enjawulo eziri mu Buddu ku Lwokubiri.

Ono asiimye abantu ba Buganda olw’obumalirivu bwe boolesezza nga bayimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka wakati mu bantu abamu okusimbira enteekateeka z’okuddiza Buganda Federo ekkuuli.

“Osanga tekyalowoozebwa nti tuyinza okubeera bwetuti, osanga tekyalowoozebwa nti tunaafuna amaanyi gano. Nti mu myaka gino 28 tunaabeera ku maviivi nga twavula nga tusaba ono n’oli atuyambe. Abantu baamalirira bo bennyini awatali kwekutulamu omuli n’Abanyarwanda ba Kabaka okuyimirizaawo emirimu gya Kabaka.” Owek. Mayiga bw’agambye.

“Ekimu ku bintu ebireeta essuubi mu Buganda be bantu ba Ssaabasajja Kabaka okwesalirawo kyeyagalire okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Sirowooza nti waliwo ekyenkana ekintu ekyo omuwendo era nze ndowooza nti ebyafaayo bwe biriwandiikibwa biriraga nti ku bintu ebingi ebituyambye okuyimirizaawo Obwakabaka mu mulembe Omutebi, tewaliwo kyenkana mwoyo gwa Buganda ogutafa abantu gwe bolesezza mu mulembe guno.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga agamba nti abantu ba Buganda bazze batoola ssente mu nteekateeka ezitali zimu omuli okutegeka embaga ya Buganda, ettoffaali, ekizimbe nga Masengere, BBS Terefayina awamu n’ebirala.

Owek. Mayiga asabye gavumenti okuggya eby’obufuzi mu nsonga z’ettemu ly‘ebijambiya era n’akakasa nti omuntu yenna ne bw’abeera ng’avunaanwa musango gwa butemu alina eddembe lye okweyimirirwa okutuusa nga kkooti emusingisizza omusango.

Ate Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki, abaami abalondeddwa abasabye okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka era n’asaba abantu ba Kabaka okukozesa buli mukisa ogujja gye bali baleme kufiirwa n’okwekubagiza.

Omumyuka wa Ppookino Yiga Paineto aloopedde Kamalabyonna Mayiga nga bwe waliwo bakyalakimpadde abatemula abantu n’ebijambiya nga ate mu kiseera kye kimu waliwo abatandise okutuga aba boodabooda kyokka ne balekawo ppikipiki.

Ppookino Yiga ategeezezza Katikkiro Mayiga ng’abantu ba Kabaka bwe bajjumbidde ku nteekateeka y’okugaba omusaayi .

Ye omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kalungu, Aisha Ssekindi akunze bannabuddu obutakoowa kwenyigira mu nteekateeka ya Luwalo lwaffe era ne yeebaza Kabaka olw’okulera abaana be mu Buganda awatali kusosola mu ggwanga wadde eddiini.

Ow’eggombolola ya Mumyuka Kalungu, Nsimbe Vincent Nkalubo asinzidde ku mukolo guno ne yeebaza Ssaabasajja Kabaka olw’okumulengera n’amuwa obwami era ne yeeyama okukola ennyo okuzza Buganda ku ntikko.

Ate ye omwami w’eggombolola ya Lwabenge Mituba 21, Nsibambi Frank Ngobya yeeyamye ku lwa banne nti bagenda kukola n’amaanyi okuweereza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka wadde ng’eggombolola eno ekyali mpya.

Mu bannabyabufuzi abeetabye mu kuleeta Oluwalo luno kuliko; omubaka Joseph  Gonzaga Ssewungu owa Kalungu West, omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kalungu, Aisha Ssekindi ne ssentebe wa disitulikiti,  Nyombi Mukiibi Kamaadi ne bakkansala ab’eggombolola ez’enjawulo.

Mu nteekateeka eno, wonna awamu Oluwalo lwa nsimbi obukadde 21 ze zikung’aanyiziddwa okuva mu ggombolola okuli; Lwabenge Mituba 21, mumyuka Kalungu, Mituba III  Mukungwe, Ssaabawaali Bukoto, Mituba 10 Kyamuliibwa awamu n’endala.

(Bya Francis Ndugwa, Bulange – Mmengo).

KAMPALA BUSINESS RADIO