Uganda yeetaaga Minisita w’ebyenjigiriza mulala – FDC

FDC eyagala Pulezidenti amasomero agaggule gonna omwaka guno, kiyambe abayizi okukozesa akadde kano.

0
Advertisement

Omwogezi w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti eggwanga lyetaaga Minisita w’ebyenjigiriza omuggya kuba Janet Museveni aliko kati alabika akwasaganyizza ebintu bingi.

Ssemujju, nga ye mubaka wa munisipaali y’e Kira agamba nti Minisita Janet Museveni tatuukikako kyokka mu kiseera kino ebyenjigiriza biri mu katyabaga.

Advertisement

Omubaka Ssemujju bino abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Mmande ku kitebe ky ‘ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala.

“Okusobola okuvvuunuka okusoomoozebwa okuliwo mu byenjigiriza, eggwanga lyetaaga Minisita w’ebyenjigiriza asobola okutuukikako akadde wonna okusobola okusalira ebizibu ebiriwo amagezi.” Ssemujju bw’agambye.

Okusinziira ku Ssemujju, okulondebwa kwa Kataaha Museveni ku kifo kya Minisita w’ebyenjigiriza kyajja nga kasiimo okuva ewa Pulezidenti Museveni ng’akawa mukyala we bw’atyo n’asaba ono atwalibwe mu Minisitule endala  etalina mirimu mingi.

“Alina ebyokukola bingi ate si kyangu kumutuukako mu katyabaga kano mwetuli. Museveni  osobola okuwa mukyala wo, Minisitule etalina mirimu mingi ng’eno etalina mulimu gwa nkalakkalira.”  Ssemujju bw’annyonnyodde.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde yagambye nti  amatendekero aga waggulu okuli Yunivaasite n’amatendekero amalala balina okutandika ku ntandikwa y’omwezi gwa Novemba.

Wabula Pulezidenti Museveni  yategeezezza nti okuggulawo amasomero ga ssekendule ne Pulayimale, abasomesa n’abawagizi abawera obukadde 4.8 nga bamaze okugemebwa.

Okusinziira ku Ssemujju,  FDC kino tekikkiririza mu nnaku za mwezi ezaateereddwawo kuba ebyenjigiriza bikoseddwa nnyo era amasomero geetaaga okuggulwa mu bwangu nga bwekisoboka.

FDC eyagala Pulezidenti amasomero agaggule gonna omwaka guno, kiyambe abayizi okukozesa akadde kano.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO