Omubaka Ssegirinya azzeemu okukwatiibwa

Ssegirinya avunaanibwa wamu ne Allan Ssewanyana ku misango egyokutemula abantu mu kitundu ky’e Masaka wamu n’okuteeka ssente mu b’ebijambiya ababadde batigomya ekitundu kino.

0

Abeebyokwerinda bazzeemu okukwata omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya mu ngeri yeemu gye baakuttemu omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana, bw’abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Kigo ku kakalu ka kkooti ka bukadde 20 ez’obuliwo buli omu.

Ono oluvannyuma lw’okukwatibwa abeebyokwerinda, atwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa ng’asikambuddwa okuva mu mmotoka ya munnamateeka we era omubaka omukyala owa Kampala, Shamim Malende.

Ssegirinya avunaanibwa wamu ne Allan Ssewanyana ku misango egyokutemula abantu mu kitundu ky’e Masaka wamu n’okuteeka ssente mu b’ebijambiya ababadde batigomya ekitundu kino.

Bino we bijjidde nga munnamateeka waabwe, Erias Lukwago yaakamala okulambula ku mubaka Allan Ssewanyana akuumirwa e Kireka n’ategeeza nti ono agguddwako omusango omulala ogw’obutemu.

Kati ekirindiriddwa kwe kulaba oba ne Ssegirinya agenda kuggulwako emisango emirala nga bwekyabadde ku Ssewanyana.

(Bya Ssemakula John).

KAMPALA BUSINESS RADIO