Obuganda bufiiriddwa munnaddiini abadde omutabaganya – Kabaka

Omutanda obubaka buno abutisse Katikkiro Charles Peter Mayiga abadde yeetabye mu kuziika Ssaabasumba Lwanga ku Eklesia y’Omutukuvu Nicholas e Namung’oona mu ssaza y’e Kyaddondo.

0

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka eri Ekelesia olw’okufiirwa Ssaabasumba Yonah Lwanga  eyafiira mu ggwanga lya Buyonaani (Greece) gye buvuddeko gyeyali atwaliddwa okujjanjaba oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa ekirwadde kya Kkookolo.

Omutanda obubaka buno abutisse Katikkiro Charles Peter Mayiga abadde yeetabye mu kuziika Ssaabasumba Lwanga ku Eklesia y’Omutukuvu Nicholas e Namung’oona mu ssaza y’e Kyaddondo.

“Obuganda ne Uganda bufiiriddwa munnaddiini abadde omutabaganya w’abannaddiini era ng’assa ekitiibwa mu nzikiriza zonna. Mu buweereza bwe abadde mwetowaze, muvumu era nga mwetegefu ekiseera kyonna okulung’amya n’okuwabula ensonga eziruma oba okunyigiriza abantu ba Katonda.” Obumu ku bubaka bwe busomye.

Omutanda ategeezezza nti Ssaabasumba Lwanga abadde amwebuuzaako era n’asaasira ab’enzikiriza eno kuba ono abadde abakulembedde okumala emyaka 24 miramba.

(Bya Ssemakula John – Namung’oona).

KAMPALA BUSINESS RADIO