Ebya Ssegirinya ne Ssewanyana bibi, gav’t ebataddeko emisango emipya

0

Omuwaabi wa gavumenti atadde emisango emirala ebiri ku babaka Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West awamu n’abantu abalala bana okuli; ogw’obutujju wamu n’okuteeka ssente mu bikolwa by’obutujju.

Bano bwe babadde balabiseeko mu kkooti y’omulamuzi esookerwako, Grace Wakoli, ng’ayita ku mutimbagano, ategeezezza kkooti nti omuwaabi wa gavumenti aliko emisango emirala ebiri gy’agasse ku bantu bano.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti bano wamu n’abalala abakyalya obutaala beetaba mu kutemula abantu wakati wa January ne August 2021 mu kitundu ky’e Masaka n’ebitundu ebirala.

Omuwaabi wa gavumenti Birivumbuka annyonnyodde kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso n’asaba kkooti eyongereyo omusango guno.

Ssewanyana ne Ssegiriinya wamu n’abalala kati bavunaanibwa emisango mukaaga okuli egy’obutemu esatu, ogw’okugezaako okutemula omuntu awamu n’emisango emiggya ebiri.

Munnamateeka wa bano, Shamim Malende ategeezezza kkooti nti omuwaabi wa gavumenti alina eddembe okubaggulako emisango emirala naye n’abalabula okwanguya okunoonyereza okuzuula abatemu abalina okuvunaanibwa mu mateeka.

“Okusigala ng’abantu baggaliddwa mu makomera kibamalako eddembe lyabwe naddala eri abantu abaabalonda ne babasindika mu Palamenti. Bano kati basubiddwa entuula za Palamenti 6 era balina n’obutali butebenkevu mu nsonga z’ebyobulamu ezitasobola kukandaalirizibwa mu makomera.” Malende bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Malende, bano beetaaga obujjanjabi obwenjawulo.Omulamuzi agubadde mu mitambo, Wakoli agwongeddeyo okutuuka nga September 29 era n’asaba munnamateeka w’abawawaabirwa okuzza ensonga z’obulwadde bwa bano nga n’oludda oluwaabi lumalirizza okunoonyereza.

Bano basuubirwa okusindikibwa mu kkooti enkulu oluvannyuma lw’okunoonyereza kuba y’erina obuyinza okuwulira emisango ekika kino.

(Bya Gambuuze)

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station