Katikkiro Mayiga asabye gavumenti okulangirira amasomero lwe gaddamu

Owek. Mayiga agamba nti wadde gavumenti erina ekkatala okukuuma abaana n’abasomesa obutakwatibwa kirwadde kya Ssennyiga Corona, naye gavumenti esaanye eteekewo ekiseera ekigere abasomesa n’abantu abakola ku masomero mwe balina okugemerwa.

0

Katikkiro Mayiga asabye gavumenti erowooze ku ky’okuggulawo amasomero agamaze emyaka egiwera ebiri nga maggale, okusobola okutaasa ebiseera by’eggwanga ebyo mu maaso era kitaase abaana bano okusoomoozebwa okwaggya n’omuggalo.

Owek. Mayiga agamba nti wadde gavumenti erina ekkatala okukuuma abaana n’abasomesa obutakwatibwa kirwadde kya Ssennyiga Corona, naye gavumenti esaanye eteekewo ekiseera ekigere abasomesa n’abantu abakola ku masomero mwe balina okugemerwa.

“Okukuuma abasomesa, abakola mu masomero ate n’abazadde n’okubataasa ekirwadde kya COVID-19 kikulu nnyo, kuba okuggula amasomero ate ne tufiirwa abantu, ate tekiriimu makulu. Awo ndowooza gavumenti esaana erambulule  enteekateeka y’okugema abasomesa n’abakola mu masomero, era esaana ewe ekiseera ekigere abeebyenjigiriza lwe banaggwaayo okugemebwa era ewe ekiseera ekigere amasomero lwe ganaggulibwawo.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

ono asabye gavumenti esoosowaze okugema abasomesa, abakola mu  masomero,  abasawo n’abeebyokwerinda bw’eba eyagala amasomero okuggulawo mu bwangu, kuba amasomero gye gakoma okusigala nga maggale, kikonya abaana ne kitta ebiseera eby’omu maaso eby’eggwanga era kikonzimbya n’ebyenfuna eby’eggwanga.

“Abaana b’eggwanga bwe batayigirizibwa, Uganda ejja kukosebwa nnyo, abasawo abatujjanjaba nabo bwe balwala ffenna tubeera mu katyabaga, abeebyokwerinda nabo bwe balwala, eggwanga libeera lisigadde mu bbanga.

Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde mu Bulange -Mmengo bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu Bannakyaggwe naddala abakulembeze omubadde ababaka ba Palamenti n’abakulira disitulikiti ku Lwokubiri.

Mukuumaddamula bano abasabye okunyweza omutima gwa mwoyogwaggwanga era bakimanye nti olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lubakwatako era n’abasaba obutayiwa era bayimirire n’Obwakabaka kubanga ensi ezze ebateekako amaaso.

Owek. Mayiga era ategeezezza nti gavumenti esaana eyongere amaanyi mu nteekateeka y’okugema abantu obulwadde bwa Covid-19 naddala abasomesa, kisobozese amasomero okuggulwa.

Ono aweze okulwanyisa abasaanyaawo obutonde bw’ensi. Akuutidde abakulembeze okulambika abantu ku kye balina okukola era bakomye okulowooleza mu kubawa, babeere bakozi kubanga ebbanga lyonna Buganda ezze esosolebwa wabula ate ne kitagiremesa kugenda mu maaso olw’ensonga nti abantu baayo beerwanako.

Bo ababaka okuva e Kyaggwe okubadde; Lulume Bayiga omubaka wa Buikwe South, Kanaabi John ssaako n’abakulembeze abalala, bategeezezza Katikkiro ng’abantu abamu mu kitundu kino bwe beesomye  okusaanyaawo obutonde bw’ensi nga bayita mu kusaawa ebibira kyokka ng’ekitongole kya NEMA ekivunaanyizibwa ku bikuuma kye kibawa olukusa.

Omwami w’essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Elaijah Boogere y’akulembeddemu bannakyaggwe okuwoza Olutabaalo lwabwe Embuga era ategeezezza Katikkiro Mayiga nga bwe basoomoozebwa ekibbattaka mu kitundu kino. Era asabye ekizibu kino kikolebweko abantu baayo basobole okunyweza obusenze bwabwe.

Abalala abakiise Embuga kuliko; Fred Kayondo owa Mukono South,  owa Munisipaali y’e Ntenjeru,  Hon.Jimmy Lwanga ne Sserubula Stephen owa Munisipaali y’e Lugazi.  Hon.Ssimbwa Fred Kaggwa owa Nakifuma County, Nabukeera Hanifa  omubaka omukyala owa Mukono awamu ne Abdallah Kiwanuka Mulima mayuuni nga bano bawerekeddwako bakkansala ku nkiiko za disitulikiti zombi.

Omukolo guno gwetabidwako abantu mu biti ebyenjawulo okuli; abaami b’amagombolola, ababaka ba palamenti, abakulembeze mu Buganda n’abantu abalala okuva mu ssaza Kyaggwe nga beesonzeemu Oluwalo lwa bukadde 8  n’emitwalo 70.

(Bya Ssemakula John – Kampala).

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station