Kkooti egobye omusango gwa Kidandala ne Ssegirinya

Omulamuzi alagidde enjuyi zombi okwesasulira ssente ezikozeseddwa mu musango guno.

0
Advertisement

Kkooti Enkulu mu Kampala egobye omusango Sulaiman Kidandala gweyawaabaa ngawakanya okulondebwa kwa Munnakibiina kya NUP era Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegriiyinya (Mr Updates) nga egamba nti alemereddwa okulaga obujjulizi nti yamuwa empaaba.

Omulamuzi Hennerieta Wolayo agamba nti Kidandala yalemererwa okuwa Ssegiriinya empaaba nga bwekirambikibwa mu mateeka mu kadde weyabeerera ku alimanda mu kkomera e Kitalya.

Advertisement

Omulamuzi era ategeezezza nti Kidandala yalina okuwa Ssegiriinya empaaba ye nga ayita mu OC we Kkomera ly’e Kitayla Fred Mugia eyali alina okukubako sitampu ku mpaaba nga akiikirira omusibe gweyalina mu kaduukulu ke n’oluvannyuma ‘Registrar’ ateeke empaaba eno ku ‘Notice Board’.

Mugia mu bujulizi bwe yategeeza nti tafunangako mpaaba eno era tagiteekangako mukono, era wano omulamuzi wasinzidde nategeeza nti empaaba teyalina kuteekebwa ku Notice Board kwokka wabula byombi byalina kutambulira wamu.

Omulamuzi alagidde enjuyi zombi okwesasulira ssente ezikozeseddwa mu musango guno.

Wabula, bino webijjidde nga Ssegirinya ali Masaka oluvanyuma lw’okuyitibwa poliisi ku bigambibwa nti ali wamu n’omubaka wa Makindye West bavujjirira abatemu b’ebijjambiya tebatta abantu mu bbendobendo ly’e Masaka.

Ssegirinya ne Ssewanyana olunaku lw’eggulo basiibye ku poliisi nga babuzibwa kajojijoji we bibuuzo. Bano, batereddwa ku kakakalu ka poliisi wabula nebalagirwa baddeyo mu ttunttu lyaleero

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO