Kabaka alonze Abaami b’amagombola abaggya

0

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye n’alonda Abaami b’amagombola abaggya awamu n’abamyuka baabwe mu kaweefube w’okwongera okutumbula entambula y’emirimu mu ggombolola ez’enjawulo.

Kino kibikkuddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu lukiiko lwa bannamawulire lw’atuuzizza mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

“Twebaza Beene kubanga atwongedde amafuta mu ntambuza y’emirimu ya gavumenti ez’ebitundu. Twebaza Abaami b’amagombolola n’abamyuka abawummudde olw’obuweereza obugasse ettoffaali ery’omuwendo ku Buganda okuva lwe baalondebwa nga 19/ Ntenvu /2014.”

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, bano baali mpagi  mu kaweefube w’ettoffaali, Oluwalo lwaffe be baatuuka nju ku nju era n’Emmwanyi Terimba awamu ne Bulungibwansi, n’emirimu emirala bagikoze n’obuteebalirira.

Mukuumaddamula Mayiga abalidde Obwami abasibidde entanda okumanya nti obuweereza ewa Kabaka tebuyimirira era balina okutandikirawo emirimu era n’asaba abawummuziddwa obutasuulirira mirimu gya Kabaka.

KAMPALA BUSINESS RADIO