Laba amagezi NUP geewadde ab’e Masaka ku b’ebijambiya

Bano era bavumiridde ekya poliisi okumala gakwata bantu nga baagala okulaga nti waliwo ekikolebwa, wabula ne basaba banoonye abantu abatuufu era n’eddembe lyabwe likuumibwe nga bwe bavunaanibwa.

0
Advertisement

Ekibiina kya National Unity Platform (NUP) kikunze bannamasaka okuteeka akazito ku gavumenti esobole okwang’anga ekizibu kino kuba embeera eno egikutte mu ngeri etamatiza ate nga bulijjo eggyayo amaanyi gonna ku nsonga ezitaliimu.

Bino byogeddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Lewis Lubongoya mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuzizza ku kitebe ky’eibiina e Kamwokya mu Kampala ku Lwokusatu.

Advertisement

“Bwe twali mu kalulu, wali olaba ab’ebyokwerinda mu byambalo ebyabuli kika naye oluvannyuma lw’akalulu ke baanyaga, baalekera awo okufaayo ku bannayuganda. Tukimanyi bulungi nti mu kalulu amaanyi agasinga baagateeka Masaka era twebuuza nti bwe kiba mu kalulu baayungula buli mujaasi okutulemesa, kati lwaki tebabayungula?” Lubongoya bw’abuuzizza.

Bano era bavumiridde ekya poliisi okumala gakwata bantu nga baagala okulaga nti waliwo ekikolebwa, wabula ne basaba banoonye abantu abatuufu era n’eddembe lyabwe likuumibwe nga bwe bavunaanibwa.

Aba NUP bagamba nti gavumenti eyanguyiriza nnyo ku nsonga ezitaliimu naye ku nsonga enkulu ng’eno omuli n’obulamu bw’abantu ekola mpola, ekireeseewo ebibuuzo ku ttemu lino n’abali emabega waalyo.

Bano kati baagala bannamasaka okusitukiramu beerwaneko ku mbeera eno kuba kirabika gavumenti omulimu gw’okukuuma bannayuganda n’ebintu byabwe gugiremye.

Ekibiina kino era kikubye ebituli mu nteekateeka ya gavumenti okuliyirira abantu abafiiriddwako abaabwe, ne bategeeza nti ensimbi zino zigenda kumaliriza ziriiriddwa abakulu mu gavumenti nga bwe gwali ku nsimbi Ssaabaminisita Nabbanja ze yasuubizza abawejere.

ku nsonga ya Pulezidenti Museveni okutegeeza ng’ebikolwa bino bwe birimu omukono gwa bannabyabufuzi, Lubongoya agambye nti kino Museveni ayagala kukikozesa kukwatirako bamuvuganya kuba azze akikola ng’abasibako amatu g’embuzi nga yakikola ne ku bawagizi ba Dr. Kizza Besigye.

Kinajjukirwa nti, ettemu ly’ebijambiya si ppya mu bitundu by’e Buddu wabula akabinja akali emabega buli lwe kalumba, kaleka abawerako nga battiddwa. Obubinja buno busooka kulabula na bibaluwa n’oluvannyuma ne batuukiriza.

Mu 2018, eyali ssaabapoliisi Gen Kale Kayihura yasiisira mu kitundu kino n’omukulembeze w’eggwanga n’ayolekera, n’asuubiza nti kino tekiriddimu kubaawo kubanga eyali agambibwa okukulira akabinja k’abeebijambiya, Muhammed Kiddawalime yali attiddwa.

Abantu abawerako baakwatiddwa wabula obunkenke bukyali bungi olwebibaluwa ebikyazunga mu bitundu n’okuwandiika ku mayumba g’abatuuze.

Abakulu mu byokwerinda obudde buno basiisidde e Buddu okwang’anga akabinja k’abeebijambiya abasuula ebibaluwa.

Wabula, ebibaluwa bye bimu birabiddwako mu ggombolola y’e Lubaga mu Kampala, nga batiisatiisa okutema abantu 100.

(Bya Ssemakula John – Kamapala).

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO