Ab’ebijambiya batemye omuntu omulala e Kyotera

Okusinziira ku nsonda ezesigika, ono abatemu bamuzingirizza ku lubalaza ng'ayingira mu nju nebamutema emikono gyombi nebadduka.

0

Akawungeezi ka leero nga zikunukiriza okuwera ssaawa bbiri, abatemu ab’ebiambiya balumbye era nebatema omukyala ategerekese nga Mariagoreth Nakyanzi owe Buyingi Kyango Kasaali town council mu Kyotera.

Okusinziira ku nsonda ezesigika, ono abatemu bamuzingirizza ku lubalaza ng’ayingira mu nju nebamutema emikono gyombi nebadduka.

Addusiddwa mu ddwaliro e Masaka ngabiwala ttaka.

Okusinziira ku batuuze,abazigu babadde baakabasuulira ebibaluwa bi kiro kitwala omunaku ebibalaalika okubatema.

Poliisi y’ekyotera eyanguye okutuuka mu kifo kino wabula nga ebadde ekyagaanye okubaako kyeyogera.

Mungeri yeemu, abantu kkumi kwabo poliisi bezze ekwata kubyekuusa ku butemu bw’ebijambiya mu bitundu bye Masaka batwaliddwa mu kkooti era nebasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 15-09-2021.

Werutukiidde olwaleero nga abantu 28 beebakattibwa mu bbanga lya mwezi gumu ggwokka.

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station