Nnaabagereka alaze obukulu bw’okugaba omusaayi

Maama Sylvia Nagginda, akunze abantu okuwaayo omusaayi kiyambeko okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga mu kiseera kino ng’eggwanga lyakava ku muggalo.

0

Nnaabagereka wa Buganda,  Maama Sylvia Nagginda, akunze abantu okuwaayo omusaayi kiyambeko okutaasa obulamu bw’abo abagwetaaga mu kiseera kino ng’eggwanga lyakava ku muggalo.

Okusaba kuno Nnaabagereka akukoledde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri bw’abadde atongoza enteekateeka y’empaka z’okukung’aanya  omusaayi okuva mu masaza ga Buganda okwang’anga ebbula ly’omusaayi eriri mu ggwanga.

“Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Minisitule y’ebyobulamu, tugenda kukuba ensiisira mu masaza ga Buganda ag’enjawulo tusobole okukung’aanya omusaayi okudduukirira bannaffe abagwetaaga.

Nga tukoledde wamu tusobola okukung’aanya omusaayi ebitundu 80 ku buli 100 eby’omusaayi ogwetaagibwa. Obwetaavu bw’omusaayi mu malwaliro weebuli bwamaanyi wadde ng’omusaayi gubadde gukung’aanyizibwa aba Kabaka Foundation nga beegasse wamu n’aba  Redcross wamu n’ebitongole ebirala.” Nnaabagereka Nagginda bw’ategeezezza.

Nnaabagereka Nagginda agambye nti wadde ebitongole bino bibadde bikola omulimu guno emirundi egiwera naye obwetaavu bukyali bwamaanyi.

Ono asabye abantu ssekinnoomu okujjumbira enteekateeka eno kuba enkya basobola okubeera abamu ku bagwetaaga okutaasa obulamu.

Okusinziira ku Nnaabagereka enteekateeka eno ejja kuyamba nnyo okukendeeza ku bungi bw’omusaayi obwetaagibwa era ekendeeze n’omuwendo gw’abantu abafa olw’ebbula ly’omusaayi.

Nnaabagereka asabye abantu bonna gye bali okwegatta mu nteekateeka eno era ne yeebaza ebitongole eby’enjawulo okuli; Redcross, Mengo Hospital ne Kabaka Foundation olw’omulimu amakula gwe bakola okukung’aanya omusaayi.

Mu ngeri yeemu asabye abantu okusigala ku bwerinde ku kirwadde kya ssennyiga Corona ekikyalemedde mu bantu n’abasaba okwongera okufaayo ku biragiro ebitangira ekirwadde kino.

Abakuutidde okusigala nga balya bulungi naddala nga bettanira emmere nnasangwa kuba eno ejja kubakuuma nga balamu era ebongere okufuna omusaayi.

Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation, Omukungu Kaggwa Ndagala ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka yasiima n’abasindika mu lutabaalo luno okusobola okutaasa bamaama abafiira mu malwaliro nga bazaala.

Omuk. Ndagala agamba nti okusinga  omusaayi babadde baguggya mu baana b’amasomero naye kati giweze emyaka 2 nga tebafuna musaayi guno olw’ensonga nti abaana bano baasindikibwa awaka oluvannyuma lw’amasomero okuggalwa olw’ekirwadde kya ssennyiga Corona.

Omwogezi w’ekitongole kya Red Cross Irene Nakasiita, ategeezezza nti bakwatagana n’ekitongole kya Kabaka Foundation ne banoonya omusaayi  nga bakikola emirundi 2 buli mwaka. Ono era agamba nti enteekateeka  y’okugenda mu masaza etuukidde mu kiseera kituufu kuba  eggwanga libadde ku muggalo.

(Bya Ssemakula John – Kampala).

KAMPALA BUSINESS RADIO