Munnakibiina kya NUP James Mubiru ayimbuddwa

Mubiru  yakwatibwa nga Novemba18, 2020 bwe yali e Nakulabye era n’avunaanibwa okusangibwa n’ebyambalo by’ekijaasi ekikontana n’etteeka lya UPDF Act 2005.

0

Kkooti y’amagye etuula e Makindye eyimbudde munnakibiina kya ‘National Unity Platform (NUP)’s era kkansala omulonde owa Lubaga North, James Mubiru  ku kakalu ka kkooti ka bukadde 10 ezitali zabuliwo.

Mubiru ayimbuddwa  Ssentebe wa kkooti eno, Lt Gen Andrew ku Lwokubiri oluvannyuma lw’okumala emyezi egiwerako ng’aggaliddwa.

“Oluvannyuma lw’okuwuliriza enjuuyi zombi, kkooti esazeewo okukuyimbula ggwe James Mubiru ku kakalu kaayo, ka ssente obukadde 10 ezitali zabuliwo.” Gutti bw’agambye.

Mubiru yasindikibwa ku alimanda mu kkomera ly’e Makindye oluvannyuma lw’okutegeka olukung’aana olumenya amateeka awamu n’okusangibwa n’ebyambalo by’amagye.

Kinajjukirwa nti,  Mubiru  yakwatibwa nga Novemba, 18, 2020 bwe yali e Nakulabye era n’avunaanibwa okusangibwa n’ebyambalo by’ekijaasi ekikontana n’etteeka lya UPDF Act 2005.

Bw’abadde ayogera ku kuyimbulwa kwa Mubiru, Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya ategeezezza nti buno buwanguzi bwamaanyi era tebajja kukoowa kubanja bantu baabwe abalala abakyali mu makomera.

(Bya Ssemakula John – Kampala)

KAMPALA BUSINESS RADIO