Mukoddomi wa Gashumba ayolekedde Kalabba lwa buliisa manyi

Okusinziira ku mwogezi wa CID, Charles Twiine, ekibonerezo ekisingayo obunene ku buliisa manyi kya kuwanikibwa ku Kalabba.

0
Advertisement

Marcus Ali Lwanga, ‘God’s Plan’ ono nga yeyali muninkini was Sheila Gashumba, muwala wa Frank Gashumba, ali mukattu lwa kukwata mukazi!

God’s Plan, kigambibwa nti eggulo yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi ye Kabalagala ng’eno yatwalibwayo jebuvuddeko ku musango gw’okukwata omukazi atanategerekeka mannya.

Advertisement

Okusinziira ku mwogezi wa CID, Charles Twiine, ekibonerezo ekisingayo obunene ku buliisa manyi kya kuwanikibwa ku Kalabba.

Twiine agamba nti mumbera ng’eno, God’s Plan yabadde alina okusooka okuberebwa omutwe wamu n’akawuka ka siriimu nga tebannassalawo misango gyakumuvunaana.
Agambye nti fayiro yomusango yaweerezeddwa ewa ‘State attorney’ nga tenatwalibwa mu court.

Mu 2018, God’s Plan yava e Bungereza nadda okwabobwe wabula nga yasinga kwatikirira mu 2019 bwe yangira mu mukwano ne Sheila Gashumba.

Wabula, mukaseera katono engambo zatandika okuyitingana nti ono okujja e Uganda yava mukkomera lyeyali amazeemu emyaka 8 nga avunanibwa gwabwakkondo.

God’s Plan ne Sheila Gashumba nga bakyali mu laavu.

Kuntandikwa y’omwaka guno, God’s Plan ne Sheila Gashumba bayawukana.

Kigambibwa nti wano ebizibu bya muva Bulaya ono webyatandikira era nga kiwanuziibwa nti ne wooteri mweyali asula yamugoba dda olw’ebbanja eddene. Ono mbu, kwekusaba omu kumikwanoje amubudamye.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO