Owek.Male awabudde kukusomesa abavubuka enono n’obuwangwa

Owek. Kyewalabye yannyonnyodde nga bwewaliwo abantu abeesomye okuwabya abavubuka ba Buganda nga bayitira mu nnono n’obuwangwa basobole okutuukiriza ebigendererwa byabwe nga abantu.

0

Minisita w’obuwangwa awamu n’olulimi mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male asabye abavubuka okusomesebwa ennono kibayambe obutawaba.

Okwogera bino, Owek. Kyewalabye Male  yabadde aggulawo  omusomo ogwategekeddwa abavubuka ba Buganda Youth Council nga bayambibwako ekitongole ky’ensi yonna ekya UNESCO okunnyikiza obukulu bw’amasiro basobole okugakuuma ku Lwokubiri.

“Abantu abalina ku nvi okubasingako oluusi boogera ebintu ebibalowoozesa nti bye boogera  bituufu naddala nga towaayo budde kumanya nakunoonyereza ate nebabiddingana nnyo ku mitimbagano. Omanyi omuntu bwaddingana ekintu nga tewali amuwakanya alowoozesa abamuwulira nti batuufu, ” Owek. Male bwe yategeezezza.

Owek. Kyewalabye yannyonnyodde nga bwewaliwo abantu abeesomye okuwabya abavubuka ba Buganda nga bayitira mu nnono n’obuwangwa basobole okutuukiriza ebigendererwa byabwe nga abantu.

Ono yajjukiza Obuganda nti omulimu gw’okuzimba amasiro g’e Kasubi gukyagenda mu maaso era nga bafunye obuvugirizi okuva mu bitongole by’ensi yonna wabula nasaba gavumenti okwongerayo okuwaayo eri omulimu guno kuba yeesinga okufunamu nga abalambuzi bajja kuno okwelabira ku masiro gano.

Ate ye Minisita w’ebyemizannyo n’abavubuka mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu yasabye abavubuka okwetaba mu kusitula, okukuuma n’okwagala eby’obuwangwa byabwe kibasobozese okuvuganya obulungi ku mutendera gw’ensi yonna.

Ate ye eyakiikiridde Ssaabawandiisi ‘ekitongole kya UNESCO mu Uganda, Daniel Kaweesi yagambye nti eby’obuwanga birina kwesigamizibwa ku ba musaayi muto era bakugenda mu maaso n’okuvujjirira ensonga zonna ezitumbula eby’obuwangwa naddala ebyo ebigatta abavubuka.

Ssentebe wa Buganda Youth Council, Omuk. Baker Sejjengo yategeezezza nti omulimu ogwabwe bajjajjaffe bagukola nga bazimba amasiro agali ku mutendera gw’ensi yonna awatali kukozesa tekinologiya nga kati kiri eri abavubuka okugakuuma. (Bya Ssemakula John, Kampala).

KAMPALA BUSINESS RADIO