Akabenje katuze 4 e Mbale, bangi balumiziddwa

Okusinziira ku Poliisi, omu kubafudde ye Stephen Woniala, 52 omutuuze we Budadiri Town council, mu District ye Sironko.

0

Abantu bana (4) bafiriiddewo mbulaga mu Kabenje ka motoka akagudde ku luguudo Tororo mu kibuga Mbale ku lw’Okubiri.

Ayogerera Poliisi mu bintu bya Elgon Taitika Rogers akakasizza akabenje kano nategeeza nti “abafudde batomeddwa loole ekika kya FUSO namba UAQ094W.’’ ebadde ewenyuuka obuweewo.

Newankubadde Poliisi ekakasizza abantu basatu abafiriddewo, omu kubatuuze Mw. Cassium Magoba, ategeezezza olupapula lwa Daily Monitor nti abafu kubaddeko aba boda boda babiri n’abebigere babiri.
Mwami Magoba ategeezezza nti, “abafudde bonna batomeddwa FUSO.”

Ng’ojjeeko abafiriiddewo, waliwo abafunye obuvune obwamanyi era nebaddusibwa mu ddwaliiro lya gavumenti e Mbale. Bano kuliko; Silas Wauma, 28, Felix Waduwa, 26, Eva Wabwire, 32, Charles Kitui, 25 ne Twaibu wafuba, 63.

Mwami Taitika agambye nti, ‘‘ Fuso namba UAQ094W eyingiridde aba boda boda abadde batisse abasabaaze.”

Ebifananyi bya Nxt Media.

Okusinziira ku mwami Taitika, “Fuso namba UAQ094W ne Daabo Kabbini namba UBB 664Q zombi zibadde zidda Tororo akabenje wekagwiriddewo. FUSO ebadde mabega wabula nefuna obuzibu era neyingirira aba boda boda abadde batisse abasabaaze.”

Okusinziira ku Poliisi, omu kubafudde ye Stephen Woniala, 52 omutuuze we Budadiri Town council, mu District ye Sironko. Kigambibwa nti abatuuze bajjeewo emirambo ebiri nebagiddusa nga akabenje kakagwawo.

Mwami Taitika agambye nti ‘‘poliisi eri mukunoonya emirambo gino gisobole okukeberebwa.”

KAMPALA BUSINESS RADIO