Ebya Ssegirinya bibi, kooti emuyise yewozeeko

Kigambibwa nti Ssegirinya omusango guno yaguzza nga 22 ogw'Okusatu,2021.

0
Advertisement

Kooti ya Buganda Road efulumizza ekiragiro nga eyita omubaka wa Kawempe North mu Palamenti Muhammad Ssegirinya ajje yewozeeko.

Ssegirinya avunanibwa omusango gw’okukuma omuliro mu bantu wamu n’okusasamaza abantu bweyali yekalakaasa nga awakanya ebyava mu kulonda pulezidenti mu January w’omwaka guno.

Advertisement

Omulamuzi omukulu owa kooti eno Marion Okello Ayo yayisizza ekiragiro kino ekiyita Ssegirinya okweyanjula mu kooti nga 21, September 2021.

Kino kiddiridde Ssegirinya wamu ne looya we Jonathan Kiryowa obutalabikako mu kooti olwaleero nga bweyalagibwa.

Kigambibwa nti Ssegirinya omusango guno yaguzza nga 22 ogw’Okusatu,2021.

Okusinziira ku Poliisi, Omubaka Ssegirinya yakwatibwa ali n’abantu abalala bataano(5) bwebaali betoloddwa enkuyanja ya bavubuka ku mulyango oguyingira mu Kikuubo mu Kampala wakati.

Mbu, bano baali bakutte ebipande ebyaliko obubaka obulangira pulezidenti Yoweri Museveni wamu n’akakiiko k’ebyokulonda okubba obuwangu bwa Kyagulanyi Ssentamu Robert.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO