Uganda Cranes egenze Saudi Arabia

Okusinziira ku Fufa, olugendo luno luvujjiriddwa ekibiina ekiddukanya omupiira mu Saudi Arabia.

0

Uganda Cranes egenze Saudi Arabia okwetegekera empaka za Cecafa. Ekibinja kya bantu 35 ngakuliko abazannyi 25 kisitudde ekiro ekikesezza leero nga bagendedde mu nnyonyi ya Qatar Airways QR 1386.

Okusinziira ku Fufa, olugendo luno luvujjiriddwa ekibiina ekiddukanya omupiira mu Saudi Arabia.

Eno, Uganda yakuzannyirayo emipiira gy’omukwano ebiri ne ttiimu ye ggwanga lya Saudi Arabia nga 2 ne 5 July.

Ttiimu ya Uganda nga etendekebwa Morley Byekwaso nayambibwaako Simeon Massa ne Stephen Billy Kiggundu, yakukuba enkambi mu kibuga Riyadh.
Enock Walusimbi ye mudumiizi wa ttiimu.

Abazannyi:

Abakwasi ba ggoolo:

Lukwago Charles (KCCA FC), Eric Kibowa (UPDF FC), Matovu Hassan Muyomba (KCCA FC),

Abazibizi:

Enock Walusimbi (Express FC), Abdu Aziizi Kayondo (Vipers SC), George Kaddu (Wakiso Giants FC), Musa Ramathan (KCCA FC), Kenneth Ssemakula (BUL FC), Magambo Peter (KCCA FC)

Abawuwuttanyi:

Bobosi Byaruhanga (Vipers SC), Abdul Karim Watambala (Vipers SC), Kyeyune Saidi (Unattached), Steven Sserwadda (KCCA FC), Bright Anukani (KCCA FC), Isma Mugulusi (Busoga United FC), Salim Abdallah (SC Villa).

Abateebi:

Mukwala Stephen Dese (URA FC), Ivan Bogere (Wakiso Giants FC), Saddam Masereka (SC Villa), Julius Poloto (KCCA FC), Richard Bassangwa (Vipers SC), Najib Yiga (Vipers SC), Hakim Kiwanuka (Proline FC), Derrick Kakooza (Police FC), Samuel Ssenyonjo (KCCA FC)

Abakungu:

Rogers Byamukama – Akulembedde ekibinja.

Morley Byekwaso – Mutendesi

Simeon Massa -Amyuka Omutendesi

Stephen Billy Kiggundu- Omutendesi wa b’Akwasi ba ggoolo.

Bashir Mutyaba – Maneja.

Emmanuel Nakabago- Omusawo

Lawrence Bwanika – Owamawulire

Samuel Mulondo -Avunanyizibwa ku byambalo

Hamza Jjunju – Mukiise wa Fufa

Sauda Babirye – Mukozi wa Fufa.

KAMPALA BUSINESS RADIO