Buganda eyisizza embalirira ya buwumbi 121

Bw’abadde asoma embalirira eno, Owek. Nsibirwa, asonze ku bintu bina ebisinze okusosoowazibwa.

0

Obw’akabaka bwa Buganda nga buyita mu Minisitule yaabwo ey’ebyensiimbi, buyisizza embalirira ya buwumbi bwa shs 121. Eno y’egenda okutambulirwako wakati wa 2021 ne 2022 era minisita wa Kabaka ow’ebyensimbi ate nga ye mumyuka wa Katikkiro owookubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, y’agisomedde Olukiiko lwa Buganda olukulu olwaleero ku Mmande.

Bw’abadde asoma embalirira eno, Owek. Nsibirwa, asonze ku bintu bina ebisinze okusosoowazibwa.

“Ebyenkizo mu mbalirira eno mulimu; okunyweza n’okutumbuula obwegassi, okugaziya ebyenfuna by’Obwakabaka, okukulaakulanya amasaza ga Buganda n’okutwala omulimu g’Amasiro g’e Kasubi mu maaso.” Owek. Nsibirwa bw’ategeezezza.

Mu birala ebikulu byamenye mulimu; okwongera okuwagira ekkakkalabizo ly’abajjajja aboobusolya nga bano bagenda kuweebwa emmotoka zibayambeko mu buweereza, okufuna abaweereza abakugu nga bakola ng’abakwanaganya b’emirimu gy’Obwakabaka ku mbuga z’amasaza zonna wamu n’amagombolola agataafuna bugaali okulaba nga bugaweebwa.

Obwakabaka era bugenda kuwa amagombolola 20 entambula ya Ppikipiki. Nga gano ge gazze gawangula gannaago mu mpaka z’okuvuganya mu kutambuza emirimu gya Kabaka obulungi. Okusinziira ku Owek. Nsibirwa, kino kijja kubayamba okwongera okugonza ku ntambuza y’emirimu.

Okusinziira ku Waggawa Nsibirwa, abavubuka bateereddwa nnyo ku mwanjo mu mbalirira y’omulundi guno. Bagenda kufuba okulaba nti waakiri abavubuka 10,000 okuva mu masaza eg’enjawulo balambuzibwa era ne bayigirizibwa emirimu egy’ekikugu egy’enjawulo kyokka nga tegyetaagisa maanyi mangi okugeza okulundira awafunda, okulima enva endiirwa n’obutiko, kibayambe okutandikawo emirimu nga bwe balinda gye baasomerera.

Abavubuka bagenda kubangulwa ku ngeri y’ekikugu ey’okuweereza wamu n’okuteekebwa mu bibiina ebyenjawulo okwaguyirwa okukwatirwako.

Minisita Nsibirwa ayanjudde ebituukiddwako okuva mu mbalirira y’omwaka oguwedde nga muno mubaddemu amakampuni g’Obwakabaka agatandikiddwawo omuli; Mmwanyi Terimba Limited, Buganda Law Chambers, Weerinde Insurance n’Olupapula lw’Obwakabaka olwa Gambuuze online publication.

Mu birala ebituukiddwako mulimu okutandika ebizimbe by’Obwakabaka omuli; Ndiwulira ku mbuga e Makindye, ennyumba Buddukiro ey’essaza Buddu eddaabiriziddwa ate nga waliwo ennyumba ezizimbiddwa e  Kigo ne Ssentema okusobola okugaziya ku nnyingiza y’Obwakabaka.

Obwakabaka era busobodde okuddaabiriza Olubiri lw’e Baamunaanika n’olwe Nkoni, kw’ossa okuvujjirira emirimu gyaTwekobe ne Butikkiro era nga kati bikozesebwa bulungi.

Owek. Nsibirwa ategeezezza nti ebyenfuna byakosebwa nnyo ekirwadde kya kolona era nga kuno kwe kusoomooza okusinze okufunibwa, wabula n’ategeeza nti kino tekijja kulobera mirimu kutambula.

Ye yanzizza abo bonna abawagira emirimu gy’Obwakabaka naddala abo abawangaalira emitala w’amayanja olw’okutambulira awamu n’Obwakabaka nga babuvujjiririra n’ensimbi.

Omulamwa gw’embalirira eno eya 2021/2022 gugamba nti, “Okutuusa obuweereza obukulaakulanya abantu ba Ssaabasajja Kabaka.”

KAMPALA BUSINESS RADIO