Buganda ekungubagidde abadde ssentebe w’e Kayunga Sserubogo

0

Minisita wa Kabineeti n’amawulire mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Noah Kiyimba, ategeezezza nti Buganda efunye eddibu ddene nnyo olw’okufa kwe yali omukiise w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Muhammad Ffeffekka Sserubogo.

Bino Owek. Kiyimba abitegeezezza olukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu, okutegeeza Obuganda amawulire gano.

“Enkya ya leero tufunye amawulire ag’ekikangabwa ag’okufa kwe yaliko omubaka mu Lukiiko lwa Buganda era abadde ssentebe wa disitulikiti y’e Kayunga, Ffeffekka Sserubogo ng’ali ku muguwa ng’afudde.” Owek. Kiyimba bw’agambye.

Ono ategeezezza nti Sserubogo abadde ayagala nnyo Kabaka we era nga  akoleredde nnyo Obwakabaka. Yaliko omukiise wa Nkobazambogo mu lukiiko lwa Buganda owa Ssettendekero wa Nakawa College of Commerce eyafuuka Makerere University Business School, ate oluvannyuma Beene n’asiima akiikirire essaza ly’e Bugerere mu Lukiiko.

“Twagala nga Obwakabaka bwa Buganda okusaasira ennyo abooluganda nab’emikwano wamu n’abantu ba Ssaabasajja Kabaka aba disitulikiti y’e Kayunga n’essaza Bugerere, olw’okufa kwa Owek. Sserubogo.” Minisita Kiyimba bw’agasseeko.

Owek Noah Kiyimba.

Owek. Sserubogo yasangiddwa nga aleebetera ku muti gwa ffene enkya ya leero nga kigambibwa nti ono yeetuze wadde nga mukyala we wamu n’abatuuze kino bakiwakanyizza.

Minisita Kiyimba agamba nti wadde ekiseera kino bingi ebyogerwa naye ke balinde ekinaava mu alipoota y’abasawo wamu ne poliisi ku bye banaaba bazudde ku kituufu ekyasse omugenzi.

Gutusinze nnyo, Ssaabasajja Kabaka.

KAMPALA BUSINESS RADIO