Buganda eyagala alipoota ku butemu bwe mmundu zifulumizibwe

0

Obwakabaka bwa Buganda busaasidde abadde Minisita w’ebyenguudo era munnamagye, Gen. Katumba Wamala, olw’obulumbaganyi bw’emmundu obukoleddwa ku mmotoka ye okukkakkana nga muwala we, Brenda Nantongo, afiiriddewo wamu ne ddereeva we, Haruna Kayondo.

Okusaasira kuno kukoleddwa Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Gen. Katumba mu kiseera kye kimu abadde yafiiriddwa omukadde omukukazi amuzaalira omukyala abadde abeera e Nnajjanakumbi.

Gen Katumba Wamala

“Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda ne ku lwange, nsaasira nnyo Gen. Katumba Wamala olw’okufiirwa kuno okw’emirundi esatu ate ng’okwemirundi ebiri kuzze mu ngeri ya ntiisa nnyo. Nsaba gavumenti n’ebitongole ebikwatibwako bakole okunoonyereza okwetengeredde.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Mukuumaddamula Mayiga agamba nti emirundi mingi obulumbaganyi nga buno bubaawo naye ebiva mu kunoonyereza tebifuluma era n’abakwatibwa tewabaawo bujulizi bubalumiriza ku butemu buno era nga n’emisango gino gikoma mu kkubo.

Owek. Mayiga era alaze okutya ku bantu abakaalakaala n’emmundu abeeyongedde ensangi zino era n’asaba emitendera egiyitibwamu okugaba emmundu gimyumyulwe kisobole okukendeeza ku ttemu ery’ekika kino.
Ono asiimye Omutonzi olw’okusobozesa Gen. Katumba Wamala okusimattuka ettemu lino.

KAMPALA BUSINESS RADIO