Wuuno katemba mu kulayiza bakkansala e Kampala

Poliisi eyingiddewo okukkakkanya embeera oluvannyuma lwa byonna okulema, omulamuzi asazeewo okwongezaayo omukolo guno era n’avaawo.

0

Wabaddewo katemba ku kitebe kya KCCA ku mukolo gw’okulayiza bakkansala b’ekibuga, ekiwalirizza omulamuzi abadde akuliddemu omukolo guno okuguyimiriza.

Katemba atandikidde ku kkansala wa Kampala Central, Moses Kataabu, ajjidde mu kakoofiira akamyufu okulayira era ng’asibiddwa mu njegere n’ekipande okuli obubaka obusaba Pulezidenti Museveni okuyimbula bannakibiina kyabwe. Omulamuzi Mariam Ayo asoose kulabula Kataabu ku ngeri gy’abadde ayambadde n’amusaba asooke abiggyemu kuba abadde ayambadde bubi.

“Buli omu wano wa ddembe,” Omulamuzi Ayo bw’agambye era ne wabaawo okuwanyisiganya ebigambo ne Kataabu.
“Kizibu ki ekiri ku ngeri gye nnyambadde? Ndi wano kulayira naye sirina buzibu bwonna. Bannayuganda bali mu buwambe, naffe tuli mu buwambe.” Kataabu bw’agambye.

Omulamuizi alemeddeko n’agamba nti Kkansala Kataabu abadde tasobola kulayira ng’ayambadde enjegere.
“Tetukukaka naye tusaba oggyeko enjegere. Okuggyako ng’oziggyeemu togenda kulayira.” Omulamuzi Ayo bw’alemeddeko.

Poliisi eyingiddewo okukkakkanya embeera oluvannyuma lwa byonna okulema, omulamuzi asazeewo okwongezaayo omukolo guno era n’avaawo.

Okuwanyisiganya ebigambo wakati wa poliisi ne bakkansala kugenze mu maaso era abamu ku bawagizi ne bakkansala ne batandika okuyimba oluyimba lwa Tuliyambala engule olwa Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine akulira ekibiina kya NUP.

Oluvannyuma Kataabu apondoose n’aggyako enjere era okulayira ne kugenda mu maaso wakati mu by’okwerinda ebibadde binywezeddwa.

Kinajjukirwa nti ekibiina kya Robert Kyagulanyi Ssentamu ekya National Unity Platform (NUP) kye kisinza bakkansala abangi mu lukiiko luno era nga kye kisuubirwa okuvaamu Sipiika.

KAMPALA BUSINESS RADIO