Lukwago alabudde Museveni

“Loodimmeeya si wa NRM era talibeera. Nalondebwa bannakampala naye watera okubeerawo abakulu mu gavumenti eyawakati okwagala okunwanyisa naye mbasaba banteekemu ekitiibwa,”

0
Advertisement

Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago alabudde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni obutagezaako kumuyisaamu maaso n’okumulemesa emirimu mu kisanja kino ekipya naye awe ekitiibwa okusalawo kwa bannakampala abamulonze.

Bino Lukwago abyogeredde ku kitebe kya KCCA mu Kampala ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okulayizibwa ku bukulu buno.

Advertisement

“Nsuubira ekisanja kino tewajja kuba bukambwe okuva mu balina obuyinza nga bagezaako okunnemesa. Nsaba Pulezidenti Museveni ateeke ekitiibwa mu kusalawo kwa bannakampala abannoonze,” Lukwago bw’agambye oluvannyuma lw’okulayira.

“Loodimmeeya si wa NRM era talibeera. Nalondebwa bannakampala naye watera okubeerawo abakulu mu gavumenti eyawakati okwagala okunwanyisa naye mbasaba banteekemu ekitiibwa,” Omuloodi Lukwago bw’agasseeko.

Kinajjukirwa nti ebisanja ebibiri ebiyise Lukwago abadde alumiriza Museveni olw’okumulemesa emirimu nga Loodimmeeya kyokka nga ne Pulezidenti Museveni alangira Lukwago okuzannya eby’obufuzi eby’ekito nalemwa okuweereza bannakampala.

Ono olw’embeera eno yatuuka n’okuggyibwamu obwesige bakkansala mu mwaka gwa 2011 nga bamulanga okukozesa obubi woofiisi ye.

Kyokka Lukwago yagamba nti Museveni yali aguliridde bakkansala wadde ye kyeyaliko kwali kulwanirira ddembe lya bannakampala naddala abanaku basobole okweyagalira mu Kampala mwebagobaganyizibwa buli lukya.

Lukwago era alabudde bakkansala okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe era beewale okwagala okuteekawo olukonko naye kuba ebbanga lyamaze nga akulembera ekibuga ebisinga byonna abirabye era nabiyitamu.

“Waliwo omuzze gwa bakkansala okuva ku mulamwa naye mbasaba okusigala ku mulamwa. Mumanye wemulina okukoma. Mumanye byemulina okukola era mubinywerereko,” Lukwago bw’abasabye.

Asabye bakkansala naddala aba NUP okwewala okugwa mu butego bwa gavumenti okubakozesa okumulwanyisa nga abapokera omusimbi.

Ono era asabye gavumenti okwongera ku mbalirira ya KCCA oluvannyuma lw’okukendeezebwa neva ku buwumbi 500 okudda ku buwumbi 300 buli mwaka zagamba nti tezimala.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO