Buganda ne UN beyamye ku kulwanyisa obutabanguko mu maka

0
Advertisement

Ekitongole ky’Amawanga Amagatte (UN) kyeyamye okwongera okukolagana n’Obwakabaka okulwanyisa embeera evaako obutabanguko obwekuusa ku kikula ky’abantu. Bino bituukiddwako mu nsisinkano ebadde ku Bulange wakati w’abakungu okuva mu kibiina ky’Amawanga Amagatte ne Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu mu Bwakabaka, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma okulaba olutalo luno we lutuuse.

Minisita Nakindu ategeezezza nti abaana bangi bafunye embuto mu kaseera kano ak’omuggalo era n’akakasa nti nga Buganda balina eddagala ku kizibu ky’obutabanguko obuva ku kikula ky’abantu naye ekimu ku bintu ebibatimawa z’ensimbi.

Advertisement

“Obuvujjirizi twabufuna era ne tukola omulimu, twasomesa abakulembeze mu kyaddondo e Kasangati ku mitendera egy’enjawulo , ne tusomesa aboogezi b’oku mikolo n’abakyala bano bassenga ababuulirira abaana abagenda okufumbirwa ku ngeri gye basobola okwewala obutabanguko mu maka.” Minisita Nankindu bw’agambye.

Minisita Nankindu ategeezezza nti mu kaweefube ono obuufu babutadde ku kutumbula embeera y’omwana omuwala, okulwanyisa Mukenenya wamu n’okulwanyisa obutabanguko mu maka okusobola okutumbula enkulaakulana mu maka nga bayita mu kutumbula eby’obulamu.

Owek. Nankindu agamba nti ekimu ku bizibu ebiremesezza olutalo luno okugguka kye kizibu ky’obwavu naye n’alaga nti omulimu gw’okukyusa endowooza z’abantu omuli abaavu n’abagagga okwewala embeera eno bagitandikako dda.

Ono asabye bannamikago bano okweyambisa Obwakabaka okwongera okulwanyisa ekizibu kino kuba akimanyi bulungi nti ku mulimu ogukoleddwa waliwo enjawulo era nga byonna ebikolebwa bitambulira wansi w’omulamwa gw’obweruufu.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu bannamikago okuli omukago gwa Bulaaya ogwa European Union, ekibiina ky’amawanga amagatte awamu n’ekitongole kya Spotlight Initiative.

Omukwanaganya w’ekitongole kya Spotlight Initiative, Luta Shaba, ategeezezza nti baakwongera okukolagana n’Obwakabaka okutumbula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda kuba waliwo ebituukiddwako okulwanyisa obutabanguko mu maka.
Ono asiimye Obwakabaka olw’okuvaayo ne balwanyisa obutabanguko era ne babuulira abantu baabwe ekituufu ku kabi akali mu muze guno.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO