Akakiiko akanateekateeka amatikkira ga Kabaka aga 28 katongozeddwa

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Magulunnyondo yasiimye ku luno Amatikkira gajaguzibwe mu Lubiri lwe olw’e Nkoni mu Buddu.

0
Advertisement

Katikkiro wa Buganda, Owek.Charles Peter Mayiga, atongozza akakiiko akagenda okutegeka ebikujjuko by’okujjukira Amatikkira ga Ssaabasajja aga 28.

Akakiiko kano kagenda kukulemberwa Omumyuka wa Katikkiro owookubiri era nga ye muwanika wa Buganda, Owek. Robert Wagwa Nsibirwa. Agenda kumyukibwa Minisita w’ennono n’ebyobuwangwa, Owek. Kyewalabye Male.

Advertisement

Ate omuwandiisi wa Katikkiro owenkalakkalira, Josephine Nantege Ssemanda, y’agenda okuba kkalaani w’akakiiko. Akakiiko kano kagenda kutuulwako Ppookino Jude Muleke wamu n’omukiise w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Nassali Daliya.

Bw’abadde abakwasa omulimu guno wali ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange- Mmengo, Owoomumbuga abategeezezza nti baddembe okuteeka omuntu yenna ku kakiiko kano oba okugunjaawo obukiiko obulala okusinziira ku bwetaavu bwe banaaba balabye.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Magulunnyondo yasiimye ku luno Amatikkira gajaguzibwe mu Lubiri lwe olw’e Nkoni mu Buddu.

Mu ngeri yeemu, Katikkiro ategeezezza nti Omutanda yasiimye okuggulawo Ttabamiruka w’abantu ba Buganda abeegattira mu kibiina kya Buganda Bumu nga 29 omwezi guno. Ono agenda kukolebwa ku mutimbagano mu nkola eya ‘ZOOM’ era aggalwewo Katikkiro wa Buganda nga 30 wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Okusoomoozebwa mu nkozesa y’ebyuma bikalimagezi.”

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO