Buganda ekooye okulinda, etwaala Gavumenti mu kkooti

Minisita Bwanika agamba nti basazeewo okukozesa kkooti kuba ly’ekkubo lyokka erisigaddewo erisobola okubawa obwenkanya.

0

Obwakabaka bwa Buganda buwadde Gavumenti ennaku 45 zokka okusasula Buganda ebintu byayo by’ebanja oba si ekyo ensonga bazimalire mu kkooti z’amateeka kuba ebbanga liyise naye tewali ky’amaanyi kivaayo.
Bino byogeddwa Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika, bw’abadde ayogerako n’omukutu guno leero ku Lwokuna.

“Obwakabaka busazeewo okuwandiikira Ssaabawolereza wa Gavumenti nga bumusaba okwetegekera Gavumenti okutwalibwa mu kkooti nga tusaba ekiragiro kya kkooti ekisaba ebizimbe bino okudda mu mikono gya Gavumenti era basasulire n’ebbanga lye babaddemu mu bizimbe bino.” Owek. Bwanika bw’annyonnyodde.

Ono agamba nti kati baagala kkooti efulumye ekiragiro ekyenkomeredde eragire ebitongole byonna ebikyali mu bizimbe bino okubyamuka era Gavumenti eriyirire Obwakabaka olw’okubutyoboola awamu n’okubunyigiriza nga zino teziri ku za bupangiisa. Owek. Bwanika agamba nti wadde bagezezzaako okutuukirira ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo oluvannyuma lwa Pulezidenti okukola endagaano ne Ssaabasajja Kabaka.

Era Pulezidenti Museveni n’alagira ebitongole bya Gavumenti okuva mu bizimbe ne ttaka lino oba si ekyo, basasule oba basasule ez’obupangisa naye ababikulira tebafaayo.
Minisita Bwanika agamba nti basazeewo okukozesa kkooti kuba ly’ekkubo lyokka erisigaddewo erisobola okubawa obwenkanya.

Okusinziira ku akulira ebyamateeka mu kitongole kya Buganda Land Board, Denis Bugaya, agamba nti kino bakikoze okulaba nti Buganda efuna omugabo gwayo kuba waliwo obwetaavu bungi okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka naye ate abalina okusasula ensimbi tebeenyeenya.

“Bwotunuulira emirimu gy’Obwakabaka nga; obulimi ne ssikaala ezigabwa, byonna byetaaga ensimbi naye zino ziva mu by’obugagga ebimaamiddwa abantu abatayagala kusasula.” Bugaya bw’annyonnyodde.

Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2013, Pulezidenti Museveni yakola endagaano n’Obwakabaka okuzza ebintu bya Buganda omwali; Embuga z’amasaza n’amagombolola, ettaka ly’Obwakabaka lyonna mu bibuga, obutale , ebizimbe n’ebintu ebirala nga byonna byalimu ebitongole bya Gavumenti, ebitali bimu wamu ne Gavumenti ez’ebitundu.

Kati ekirindiriddwa kwe kulaba oba abakulu bano banaasasula ensimbi ezisoba mu buwumbi oba banaalinda ekiragiro kya kkooti ekibalagira okubivaamu.

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station