Buganda ezzeemu okubanja Federo

Okusinziira ku Owek. Mpanga, ensonga eno tesobola kwawulwa ku byabufuzi kubanga obuyinza kwe butambulira.

0
Owek Mpanga.

Obwakabaka bwa Buganda buzzeemu nate okubanja enfuga ey’enkola ya Federo erudde ng’eyaayaanirwa wabula nga mpaawo kituukibwako, busobole okuyambako gavumenti ku mugugu gwe yeetisse ogw’okulabirira n’okulaakulanya abantu.
Minisita wa Buganda ow’ensonga ez’enkizo, David Mpanga y’abotodde ekyama kino bw’abadde mu Masengere olunaku lwaleero ku Lwokusatu.

Owek. David Mpanga agambye nti ku luno essira balitadde ku kusomesa bannayuganda ebirungi ebiri mu nfuga eya Federo era bakimanye nti si ya Buganda yokka wabula ya Uganda yonna, era ng’akkiriza nga kino kijja kuyambako okugibanja mu bwangu.

“Tugenda kumanyisa era twagazise abantu enkola eno eruubirirwamu okugabana obuyinza, bo bagibanje bannabyabufuzi.” Owek. Mpanga bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Owek. Mpanga, ensonga eno tesobola kwawulwa ku byabufuzi kubanga obuyinza kwe butambulira.
Ku biriwo, Owek. Mpanga agamba nti enkola ya Federo y’engeri yokka esobola okukkiriza abantu okukola emirimu awatali kwesojja nga bonna balulunkanira obuyinza obwawamu.

Ono alaze nti abantu basaanye okukimanya nti Federo etumbula obumu n’enkulaakulana esobola okukuza ebitundu kubanga buli kitundu kya ggwanga kiba kiganyulwa mu bugagga bwakyo.

“Uganda okutebenkera n’okufuna emirembe gye tunoonya twetaaga Federo,” Bw’atyo bw’akkaatirizza.

Kinajjukirwa nti Obwakabaka bwa Buganda buludde nga busaba enkola ey’okugabana obuyinza era ng’ensonga eno yeemu ku biri mu nteekateeka Nnamutayiika y’Obwakabaka ezimanyiddwa nga Ssemasonga ettaano.

Era okunnoonyereza okwasemba okukolebwa omulamuzi Benjamin Odoki, kwalaga nti abantu ebitundu 65 ku buli 100 mu bitundu bya Uganda bayaayaanira enfuga eno, wadde tekimanyiddwa lwaki n’okutuuka kati eno teweebwanga bannansi.

KAMPALA BUSINESS RADIO