Teri yakoze ffujjo ku Katikkiro- famire ya Ssekiboobo

Okusinziira ku Nnamwandu Sarah Kigongo, ng’ayogerako eri bannamawulire Yagambye nti famire eyongera okusiima Katikkiro Mayiga olw’okubawa obudde ne yeetaba mu kwabya olumbe era bakakasa nti omukolo gwatambudde bulungi.

0
Advertisement

Abenju ne famire ya Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo, bagamba nti beewuunya ensibuko y’amawulire ag’obulimba agatambula ku mutimbagano nga Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yakoleddwako effujjo kye bagamba nti bino tebiriiko mutwe na magulu.

Bano abakulembeddwamu Nnamwandu Sarah Kigongo bayise mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza e Nasuuti mu Mukono, ne beetondera Kamalabyonna era ne beewuunya ku nsibuko y’amawulire gano kuba ebikolwa ebyogerwako tebaabirabyeko ku mukolo ogwabaddewo ku Lwomukaaga e Nekoyedde mu Nakifuma mu Mukono.

Advertisement

Okusinziira ku Nnamwandu Sarah Kigongo, ng’ayogerako eri bannamawulire Yagambye nti famire eyongera okusiima Katikkiro Mayiga olw’okubawa obudde ne yeetaba mu kwabya olumbe era bakakasa nti omukolo gwatambudde bulungi.
Kigongo ayagala emikutu gy’amawulire gyonna egyavuddeyo ne giwandiika ebigambo eby’obulimba nti abantu bakoze effujjo ku Katikkiro okuvaayo babeetondere nga bo abaabadde bamukyazizza.

Ye eyabadde ssentebe w’omukolo guno, Stephen Ssozi Ssewannonda ssaako ne muganda w’omugenzi, Paul Kaddu, bagamba nti obuzibu bwavudde ku byuma byavuddeko obuvi oluvannyuma lw’okwokyebwa amasannyalaze era ne beetonda ku byonna ebitaagenze bulungi.

Ate ye Ssekiboobo Elijah Bogere Mulembya ng’ali ku mukolo ogw’okulayiza obukulembeze bwe Mpatta mu ggombolola y’e Ntenjeru mu Mukono, alabudde nti tebagenda kusirika ku muntu yenna agenda mu maaso n’okuvvoola Obwakabaka naddala ng’ayita ku mutimbagano.

Mulembya asabye bannakyaggwe obutaganya muntu yenna ayagala okukozesa ssaza lyabwe okulumba Obwakabaka nga beekwasa okubwagala.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO