Olutalo ku Kasasiro e Masaka

Ku nsonga ya Kasasiro omungi mu kibuga, alondoola eby’obulamu mu Masaka, Maberi Musa, agambye nti bannamasaka baakutandika okusasulira kasasiro waabwe okutandika n’omwezi Ogwomusanvu, kiyambe okwanguya okumuyoola.

0
Advertisement
Ekif/ Gambuuze.

Ppookino Jude Muleke ne Mmeeya omulonde owa Masaka, Florence Namayanja, batadde abatwala ekibuga Masaka ku nninga bannyonnyole ku kasasiro omungi aludde nga tayoolebwa wakati mu kibuga era bano baweze okunoonyereza ku mbalirira ya ssente ezibadde ezaayisibwa okuyoola kasasiro ono.

Kino kiddiridde abakulu ku ssaza wamu n’abakulembeze abalonde okusalawo okukolanga Bulungibwansi buli Lwamukaaga olusemba mu mwezi era ne jjo nga 24/4/2021 yakoleddwa wabula ng’abantu tebannaba kujjumbira nga bwe kisuubirwa.

Advertisement

Bano baayodde kasasiro abadde akung’anyizibwa mu bifo ebyenjawulo okuli; Ssaza, Kijjabwemi ne Kyabakuza era nga baapangisizza ebimotoka okumutikka n’okumutwala gy’ateekeddwa okusuulibwa.

“Kasasiro omungi gwe tuyodde atulaze nti waliwo omulimo ogubadde gubulamu era twagala nsaasaanya ku nsonga eno, twagala okutunuulira engeri kasasiro gy’abadde akung’aanyizibwamu ne ssente mmeka ezibadde zigenda ku kasasiro ono olwo tulyoke tumatire.” Mmeeya omulonde Florence Namayanja bwe yategeezezza.

Ppookino Jude Muleke naye yennyamidde olwakasasiro ayanjadde mu kibuga kya Kabaka. “Ssente zibadde teziyisibwa? Obwerufu buli ludda wa? Abantu bawa layisinsi.” Omwami wa Kabaka Muleke bwe yabuuzizza.

Ono alabudde abakulembeze abalinze okulayira nga bwe bayina omulimo omunene ogwokukola wabula ne yeeyama ku lw’Obwakabaka okubakwasizaako kuba kino ekibuga Ssaabasajja ye yakisaba.

Ye akulira bulungibwansi mu Buddu, Badru Kagga, yagambye nti bakyatalaaga disitulikiti zonna ezikola Buddu era omwezi ogujja bagenda Kalungu ate mu Gwomusanvu bagende e Bukomansimbi.

Mu ngeri yeemu abaddukanya ekibuga Masaka nga bakuliddwamu Ttawuni kkanso basinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire ne batongoza Ssabbiiti y’okweyonja era eno ejja kutandika ku Mmande era eno yakubeerawo buli mwaka.

Ttawuni kkanso,John Bahengana, yategeezezza nti mu wiiki eno bajja kuyonja awamu n’okusomesa abantu ku buyonjo omuli okuzimba kaabuyonjo era asinzidde wano n’alaga nga bwe bafunye ekifo we bagendanga okuyiwa kasasiro.

Ku nsonga ya Kasasiro omungi mu kibuga, alondoola eby’obulamu mu Masaka, Maberi Musa, agambye nti bannamasaka baakutandika okusasulira kasasiro waabwe okutandika n’omwezi Ogwomusanvu, kiyambe okwanguya okumuyoola.

Abatuuze nabo boogedde ku ky’okubasasuza kasasiro abasinga bwe bategeezezza nti kirungi naye bakipapidde ng’abantu beetaaga kusooka kusomesebwa.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO