Buganda erabuddwa ku nkozesa y’emitimbagano

“Omulabe wa Buganda akozesa mitimbagano ng’ekyokulwanyisa kubanga akimanyi nti kye kimu ku by’okulwanyisa ebyamaanyi akaco kano. Ekyokulwanyisa ekyo kireme kubawugula.”

0

Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Mukungu Moses Luutu, asabye BannaBuddu obutakkiriza kuwubisibwa bulimba obutambulira ku mitimbagano nga bugendereddwamu okunafuya Obwakabaka bwa Buganda. “Omulabe wa Buganda akozesa mitimbagano ng’ekyokulwanyisa kubanga akimanyi nti kye kimu ku by’okulwanyisa ebyamaanyi akaco kano. Ekyokulwanyisa ekyo kireme kubawugula.” Omuk. Luutu bye yagambye.

Okwogera bino, yabadde mu Lubiri lwa Kabaka e Mmengo nga atikkula Amakula ga Kabaka agaaleeteddwa eggombolola ya Mutuba 11-Bigasa ne Mutuba 22 -Kitanda, agasangibwa mu ssaza ly’e Buddu.

Katikkiro w’ebyalo yategeezezza nti abakonjera Obwakabaka be paatikako amannya g’ekiganda okulowoozesa abantu nti balumirirwa Obwakabaka kumbe bagenderera kubusuula. Wabula ono yagambye nti omulabe wa Buganda alumwa olw’okuba buyitimuka era n’ategeeza nti tekimwewuunyisa kubanga omuyembe oguliko ebibala gwe gukubwa amayinja.

Omuk. Luutu yeebazizza bannabuddu olw’okunyiikirira enkola ya Mmwanyi Terimba wabula n’abasaba okwettanira ennima ey’omulembe era n’awanjagira gavumenti eyaawakati okukwatizaako naddala ku nsonga y’eddagala ly’obuwuka obumalawo emisiri gyabwe egy’emmwanyi n’ebirime ebirala.

Abaami b’amagombolola gano; Omwami Abbas Ssenyonjo n’Omwami Kizito Henry, basabye Katikkiro abayambeko okwerula empenda z’ettaka lya Kabaka erisangibwa mu magombolola gaabwe kibataase ku bannakigwanyizi abagufudde omuze okwesenza ku ttaka lya Nnyinimu n’ekiviirako okuzing’amya emirimu gy’Obwakabaka.

Bo aba Mutuba 22 baasabye Obwakabaka okubafulumiza pulaani y’ekizimbe ky’eggombolola lyabwe beekolemu omulimu, bakizimbe. Ensonga zaabwe Katikkiro w’ebyalo yabasuubizza okuziwaaba Embuga.

Mu baaleese Amakula mwe mwabadde ababaka abalonde ab’ebitundu bino; Dr. Ndiwalana Christine Nandagire ( Bukomansiimbi North) ng’ono yakubirizza abavubuka okwewala Mukenenya nga sSsabasajja bwe yalagira ate n’asaba abalimi b’emmwanyi okugoberera emitendera emituufu basobole okuzifunamu.

Ye Veronica Nanyondo owa Bukomansimbi south, yeeyamye okwongera okuleetera abalimi emisomo ate n’abasaba bagijjumbire n’okwekenneenya ennyo eddagala ly’ebirime nga tebannalikozesa. Yeebasizza abatuuze be okujjumbira Amakula wadde ng’abasinga obungi basoomoozebwa ekirwadde kya kolona.

BannaBuddu beetikkidde Nnamunswa ebintu omuli; ebisolo, ebirime n’ebintu ebikozesebwa awaka eby’enjawulo.

KAMPALA BUSINESS RADIO