KITALO! Omusumba Kaggwa afudde

Okusinziira ku lutikko ye Kitovu nga eyita ku mutimbagano gwa Facebook, Bishop Kaggwa afiriidde mu ddwaliiro ekkulu e Mulago.

0

Omusumba w’essaza lye Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde olweggulo lwa leero era nga kigambibwa nti ono ekirwadde kya sennyiga Corona kyekimuggye mu budde.

Okusinziira ku lutikko ye Kitovu nga eyita ku mutimbagano gwa Facebook, Bishop Kaggwa afiriidde mu ddwaliiro ekkulu e Mulago.

“Kitalo Nnyo. Bishop John Baptist Kaggwa, Mukama Amuyise,” obubaka obubadde obumpimpi bwebubadde busoma.

Ono abadde ajjanjabwa ekirwadde kya Corona muddwaliro e Mulago Sabiiti ebbiri eziyise.
Omusumba Kaggwa yawummula omwaka oguwedde era nga ono Omusumba Serverus Jjumba ye yamuddira mubigere.


Bishop Emeritus John Baptist Kaggwa yazaalibwa nga 23 March 1943 era nga afiiridde ku myaka 77.

KAMPALA BUSINESS RADIO A Zeno.FM Station