Poliisi ekutte 5 lwakutigomya kyaalo

Bino, bibaddewo kumakya g'Olwomukaaga ku 'Boxing Day' ku saawa nga nnya.

0

Bya Benon Kamala, MUKONO.

Poliisi na Amagye nga batuziizza wansi omu ku batuuze abaasangiddwa ku Loyal Bar and Guest House.

Poliisi ngeyambibwako amagye basazeko  ekifo ekisanyukirwamu,ekya ‘Loyal Bar and Guest House’ nebakwaata abatuuze abateberezebwa okukolagana nabazigu abatigomya bannaMukono ensangi zino.
Bino, bibaddewo kumakya g’Olwomukaaga ku ‘Boxing Day’ ku saawa nga nnya.

Kyadiridde abamu ku batuuze (amannya agasirikiddwa) okubagulizaako ab’ebyokwerinda mu kitundu nti ekiffo kino kyeyambisibwa abazigu,abakozesa emmundu okutigomya banna Mukono.

Ekifo kino kisangibwa ku kyalo Kikooza mu masekkati g’eKibuga Mukono,wabula nga Poliisi okukyesogga esanze akasera akazibu oluvanyuma lwa kikulira okugana okubaggulira.

Poliisi ngesaazeko ekifo kya ‘Loyal Bar and Guest House’ wansi newagulu.

Wabula okukiyingira poliisi yeyambisiza omukka ogubalagala(Tear-gas),ekiwalirizza abamu ku batuuze ababadde bagenze okwesanyusamu okuggulawo kumpaka nga bafa ekiziyiro.

Kigambibwa nti poliisi wetukiidde munda nga abateberezebwa okubeera abazigu baabatebuse nebadduka era nga oluvanyuma lwokufeffetta wansi newaggulu mu mabaati,basanzewo amasasi gemmundu ekika kya ‘Alexandra Koralov 47’ (AK47) nemmundu endala eyakazibwako Kitikyamuwogo.

Ow’amagye nga alaga amasasi agaazuliiddwa mu kifo .EBIF. Benon Kamala.

Nalumu Hellen ne muganzi we Nihawereza Richard abaddigize ababaddewo nga bino bigenda mu maaso,balumirizza akulira ebikolebwa mu kifo kino ‘manager’ Dangira Jamir okubako kyamanyi.

“Nze ne muganzi wange tumazze mu kifo kino wiiki namba nga twesanyusamu naye tubadde tetulabangako Poliisi ngetuzingako,kyoka bwetuuse ‘Manager’ Dangira ayongedde kusibawo,nange ndabye omukka gutubalagala nnyo kwekuggulira Poliisi” Nalumu bweyagambye.

Kyoka Poliisi ng’eduumirwa ASP Abubaka Musiho esoose kusoya kajjojjijjojji webibuuzo akulira ekifo kino,neyerema okwogera era ekiddiridde kwe ku muteeka ku kabangali yaayo n’abadigize abalala bataano(5) abasangiddwa mu kifo kino.
Poliisi yyo tesobodde kubaako kyeyogera ku kikwekweeto kino.