Abakulira abakadde bagala nnongosereza mu tteeka

Olw'obungi bwabavubuka mu ggwanga, abakadde balowooza gavumenti tebayisizza kyenkanyi naddala mungabanya ya Keechi ye ggwanga.

0
Advertisement

Bya Benon Kamala.

Omuyambi wa Gen Katumba, Omw Juma Were (KU DDYO) nga akwaasa omu ku bakadde ebintu bya Sekkukulu| Benon Kamala.

MUKONO – Mu kawefube ow’okuteeka abakadde ku mwanjo, mu 2013 Pulezidenti Yoweri Museveni yateeka omukono ku Tteeka erissaawo obukulembeze bw’abakadde, erimanyiddwanga ‘Local Gavumenti Act (Cap 243).Section 10-(1),(f).’

Advertisement

Okwawukanako n’amateeka amalala,okugeza ‘National Youth Act’ erikwaata kubavubuka wamu ne ly’abakyala,waliwo abakadde abaagala etteka lyabwe likolebwemu ennongosereza oluvannyuma lw’okulikubamu Ttooci.

Olw’obungi bwabavubuka mu ggwanga, abakadde balowooza gavumenti tebayisizza kyenkanyi naddala mungabanya ya Keechi ye ggwanga.

Hajji Kalungi Salongo nga y’amyuka Ssentebe w’abakadde mu disitulikiti y’eMukono,agamba etteka libawa kubera nankizo mu bukulembeze naye terinnyonnyola omuntu omukadde bweyandibadde afaanana.

“Ensonga esengeka emyaka emituufu omukadde kwatandikira,terambululwa bulungi mu tteeka lino,era kyetagisa okuddamu okusiiga ekifaananyi ekijjayo emyaka emituufu,” Kalungi bweyagaseko.

Ssemateeka wa Uganda yatulaganga emyaka 65,wabula mu kaseera akokutandika okugaba sente zabakadde ezabuli mwezi emyaka gyalinyisibwa okutuuka ku 80.

Abakadde b’e Mukono nga bafuna ebya Sekkukulu|BENON KAMALA.

Bino byatukiddwako ku Jobiah Hotel mu Kibuga ky’eMukono,abakadde bwebaabadde bakwasibwa ebintu byennaku enkulu okuva ewa Minisita we by’enguudo Gen Edward Katumba Wamala.

Ebintu ebyawereddwa abakadde mwabaddemu; Sukaali,omuceere,ennyama y’eNte, ssabbuuni,emigaati nebirala.

Byabakwasiddwa omuyambi wa Minisita Juma Were,ku Lwokuna nga 24 Ntenvu (December) wa 2020.

Ssemateeka w’amawanga amagatte(UN) alaga nti emyaka gy’omuntu omukadde gitandikira ku 60 n’okweyongerayo,kyoka ate ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya “World Health Organisation” kirambika myaka 50 nokudda wagulu.

Magera William Wilberforce,Kansala w’abakadde abami ku Munisipaali y’eMukono,agamba nti ensonga y’okukunga’anya ebikwatta ku bakadde yabitandikako era alinako watuuse.

“Nga nyambibwako abakulembeze b’ebyaalo,tusobodde okusolooza ebikwaata ku bakadde abasoba mu 2500, nga 800 ku bano bebalina emyaka 80 n’okudda wagulu era nga ne sente eziwebwa abakadde buli mwezi baazifuna dda,”Magera bweyagambye.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO