FUFA eronze abatendesi ba U-17

Uganda eri mu kibinja B wamu ne Ethiopia saako Kenya.

0

FUFA eronze omutendesi wa kiraabu ya Rays of Grace , Hamuza Lutalo okutendeka tiimu ye Ggwanga ey’abalenzi abatasussa myaka 17 emanyiddwa nga Uganda Cubs.

Brian Ssenyondo.

Lutalo wa kumyukibwa omutendesi wa Mbarara City Brian Ssenyondo, Arthur Kyesimire ( fitness coach) ne Kiberu Mubarak ng’omutendesi wa bakwaasi ba goolo.

Omukyala Mable Kabatalindwa okuva mu Rays of Grace yalondeddwa nga omusawo wa tiimu.

Mable Kabatalindwa.

Lutalo ne banne balina obuvunanyizibwa okutegeka tiimu enavuganya mu mpaka za CECAFA eza U-17 ezinabeera e Rwanda okuva nga 13 okutuuka nga 28, December, 2020.

Okusinziira ku kiwandiiko FUFA kyeyafulumizza eggulo, bano bawereddwa emyezi mukaaga (6) ku mulimu guno.

  Uganda eri mu kibinja B wamu ne Ethiopia saako Kenya.

Omuwanguzi w’empaka zino ajja kukikirira ettundu tundu lya CECAFA mumpaka za Africa e Morocco omwaaka oguujja.

KAMPALA BUSINESS RADIO