Buganda enyoleddwa nnyo olw’okufa kwa Yiga- Katikkiro Mayiga

Ayogedde ku mugenzi ng'omusajja abadde omujagujagu ekimusobozesezza okubaako n'eby'obugagga byakoze.

0

Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga agambye nti Buganda enyoleddwa nnyo olw’okufa kw’omusumba Augustine Yiga.


Katikkiro ayogedde ku mugenzi Yiga bangi gwebabadde  bakazaako erya Abizaayo ng’omusajja abadde omukozi ennyo era omumalirivu mu byabadde akola.

Katikkiro Mayiga nga ayogeramu ne Andrew Jjengo, mutabani w’omugenzi Yiga|Ekif. Buganda.

Bino, Owek Mayiga abyogedde agenyiwaddeko e Kawaala ku Revival Christian Church okukubagiza ab’enju wamu n’abagoberezi b’omusumba Yiga.

Ayogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde omujagujagu ekimusobozesezza okubaako n’eby’obugagga byakoze.

Omusumba Yiga Augustine Abizzaayo mu bulamu.

Ono ajjukizza abakungubazi nga Omusumba Yiga bweyali omu ku bantu abavaayo okwanukula omulanga gw’ettofaali mu kaweefube w’okunoonya ssente ez’okuzimba buggwe ku masiro wamu ne Masengere era nasiima abagoberezi b’ekkanisa eno olw’omutima omugabi gwebalaga.

Owek Mayiga ng’ayogerako eri abakungubazi.

Mungeri yeemu, Katikkiro alabudde abasumba okukomya okwelumbagana kubanga ebigambo by’enzirikiriza buli omu abitaputa bubwe, abasabye bawangane ebitiibwa mwebyo byebakiririzaamu.

Kinajjukirwa nti omusumba Yiga nga yakafa, Jackson Ssenyonga ng’ono ye nanyini kanisa ya Christian Life Church e Bwaise, yavuddeyo nayogerera omugenzi ebigambo abangi byegaambye nti byabadde tebiraga bugunjufu.

Ssenyonga yalangidde Yiga obufere, obwenzi nebirala bingi.

Yiga yafa mukiro ekyakeesa kulw’Okubiri oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga apookya n’obulwadde mu ddwaliiro e Nsambya.

Abamu kubaawerekedde ku Katikkiro e Kawaala.

Katikkiro awerekeddwako Minisita w’amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa, n’abaami ba Kabaka ab’enjawulo.

KAMPALA BUSINESS RADIO