Okufa kw’Omusumba Yiga: Kiikino ekiraamo ekikambwe kyalese akoze

Omusumba Augustine Yiga owa Revival Church e Kawala ono nga abadde amanyiddwa nnyo nga Abizzaayo afudde.

0

Omusumba Augustine Yiga owa Revival Church e Kawala ono nga abadde amanyiddwa nnyo nga Abizzaayo afudde.


Okusinziira ku mukutu gwa Tv ya Yiga ABS, omusumba yafudde mu matulutulu ga leero ku lw’Okubiri.

Yiga amaze ebbanga nga apookya n’obulwadde mu ddwaliiro e Nsambya.

Wabula oluvanyuma lw’okufa kw’omusumba Abizzaayo, esonda zitubbiddeko nti ono alese akoze ekiraamo ekyewunyisa.

Kigambibwa nti Abizzaayo yalagira ab’enjuuye bamuziike mu Kanisaye!

Era mbu bamuteremu ne TV ebeere nga eraga pulogulamu za Tiviiye ABS ewumuzza ebirowoozo.

Kyokka, tekinamayibwa oba nga ab’oluganda lwa Yiga banagoberera ekiraamo kino.


Mubulamu bwe, Abizzaayo abadde omu ku basumba abateerya ntama. Era jebuvuddeko katono, Yiga yatwaalibwa mu kkomera olw’okugamba abagoberezi be wamu n’Eggwanga lyonna nti mu Uganda temuliimu kirwadde ki Covid-19.

KAMPALA BUSINESS RADIO