Uganda erinnye mu nsengeka za FIFA

Munsi yonna, Belgium, France, Brazil, England ne Portugal beebaddiringana mu bifo ebitaano ebisooka. 

0

Tiimu ya Uganda ey’omupiira gw’ebigere enkulu, Uganda Cranes erinnye ekifo kimu mu nsengeka za FIFA ezakafuluma.

Unganda nga ebadde mu kifo kya 77, kati ya 76 ku bubonero 1321.

Mu Mawanga g’Obuva Njuba bw’Africa, Uganda ekyenywerezza ku ntikko.  Kenya yeddako mu kifo kye 103 nekuddako Rwanda (133) wamu ne Tanzania (134).

Ethiopia (146), Burundi (148) ne South Sudan (168) olwo nebagoberera.

Uganda yetegekera okwambalagana ne South Sudan omwezi ogujja emirundi ebiri egiddiringana mu kusunsulamu abanetaba mu mpaka z’Africa eza 2022 mu Cameroon.

Senegal (21), yekyalidde empanga ku lukalu lw’Africa. Tunisia  eri mu kya 26, Algeria ya 30, Nigeria ( 32 ) ate nga Morocco eri mu kya 39.

Munsi yonna, Belgium, France, Brazil, England ne Portugal beebaddiringana mu bifo ebitaano ebisooka.

KAMPALA BUSINESS RADIO