Police yetondedde Obwakabaka bwa Buganda

Police ya Uganda yetondedde Obwakabaka bwa Buganda olw'okukuba omukka ogubalagala mu mukolo gw'Ekika ky'Embogo e Mugulu Ssingo.

0

Poliisi ya Uganda yetondedde Obwakabaka bwa Buganda olw’okukuba omukka ogubalagala mu mukolo gw’Ekika ky’Embogo e Mugulu Ssingo.

Avunaanyizibwa ku by’obufuzi n’omuntu wa bulijjo mu Poliisi Assan Kasingye yakulembeddemu ekibinja ekisisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange.

Basabye Obwakabaka bubasonyiwe kwebyo ebyaliwo era basuubizza okubonereza omusirikale eyaduumira ekikolwa ky’okukuba omukka ogubalagala mu bantu abaali bakungaanye okwebaza Katonda olw’obuweereza bw’Omutaka Kayiira Gajuule bweyamala nga yemukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka.

Katikkiro alaze obwennyamivu olw’ebikolwa bya Poliisi ebityoboola eddembe ly’abantu ebyeyongedde ensangi zino. Asabye abasirikale abeetaba mu kikolwa kino babonerezebwe.

Eggulo, Afande Kasingye yakulembeddemu banne nebagenda ew’Omusumba w’essaza ly’e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa, nebamwetondera ku kikolwa kyekimu.

Bweyabadde atandika okwogerako eri aba Poliisi, Omusumba Kaggwa yagambye, “nze nga munnaddini nabasonyiwa dda  kuba kiri mu nzikiriza yaffe okusonyiwa.”

Era yayongeddeko nti abapoliisi tebaawa bantu bali Mugulu kwennyonnyolako  era ng’embeera y’obunkenke gyebaateekamu abantu yali teyeetaagisa era nga n’ebiragiro bya Ssennyiga Corona byali bikwatiddwa bulungi.

Era Omusumba yasabye ab’ebyokwerinda okukolayo ekiwandiiko ekyetondera eggwanga lyonna olwebyo bye bakoze, kisobole okuzza emitima gy’abantu.

Kinajjukirwa nti nga 17 omwezi guno, Poliisi yakuba ttiyaggaasi mu b’ekika ky’Embogo abaali bakung’aanidde ku Butaka bwabwe e Mugulu mu Ssingo, okwebaza Katonda olw’obuweereza bwa Jjajja Kayiira Gajuule ng’omukubiriza w’olukiiko lw’abataka, obuvunaanyizibwa bw’abaddeko okumala emyaka musanvu.

KAMPALA BUSINESS RADIO