Bobi Wine akiise e Mbuga

Wabula nga akyalindirira olunaku lw'okwewandiisa okutuuka, Mw. Kyagulanyi asookedde Mmengo mu Bulange eno nga ye mbuga ya Buganda enkulu gyagambye nti abadde anonyeeyo mukisa. 

0
Advertisement

Omubaka wa Kyaddondo East mu Palamenti era nga ye mukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert (Bobi Wine) olwaleero akakasizza nti wakwewandiisa nga 3 omwezi ogujja.

Wabula nga akyalindirira olunaku lw’okwewandiisa okutuuka, Mw. Kyagulanyi asookedde Mmengo mu Bulange eno nga ye mbuga ya Buganda enkulu gyagambye nti abadde anonyeeyo mukisa.


Advertisement

Omubaka Kyagulanyi eno asisinkaniddeyo Katikkiro Charles Peter Mayiga. Bano, beevumbye akafubo akamaze akabanga era nga tekakkiriziddwaamu bannamawulire.

Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omubaka Kyagulanyi Ssentamu.

Oluvanyuma, Katikkiro n’omugenyiwe boogeddeko eri abamawulire wamu ne eggwanga lyonna.

Mw. Kyagulanyi aloopedde owomumbuga nti agenda kuvuganya kubukulembeze bw’Eggwanga mu kalulu ka 2021.

Era Omubaka Kyagulanyi akakasizza nti, nga “ebitundu bya Uganda ebirala bwebikoze, ne Buganda ebizibu ebigiruma ebikwase Kyagulanyi”.

Era agambye nti Buganda bwetuma Kyagulanyi Ssentamu omuganda eyeddira e Mbogo, eba tetumye wabula eba yesitukidde.

Katikkiro Mayiga ategeezezza Kyagulanyi ne banne abalala beyazze nabo nti Buganda eyaniriza buli omu akiika ebuga kasita aba ng’wa Kabaka wamu ne Buganda ekitiibwa.

Katikkiro Mayiga agambye nti “Buganda tesobola kusonga ku muntu yenna kubaga Kabaka tayawula mu baanabe”.

Wabula, alambise abantu ba Buganda kwebyo byebalina okugoberera nga balonda mu 2021.

“Mbawadde akatiba kemuba mukozesa nga mulonda. Mulonde abo abasoosowaza ensonga za Buganda ssemasonga ettaano”.

Abamu ku bantu ababadde bakwatiriridde ku luguudo Kabakanjagala nga balindiridde Bobi Wine.

Nga tannatuuka mu Bulange, Omubaka Kyagulanyi ne banne basooke kwezooba n’abakuuma ddembe abadde babatangira obutayita ku nguudo ezimu wabula nga bbo belemye.

Era wano, omukka ogubalagala gukubiddwa akubagumbulula. Oluvanyuma beyongeddeyo mpaka nebatuuka e Mmengo.

Advertisement
KAMPALA BUSINESS RADIO