URA eyanjudde Simeon Masaba

Nga ojjeeko URA, Masaba yazannyirako SC Villa ne Police mu liigi ya Uganda.

0
Advertisements
Advertisements

Tiimu y’omupiira ey’abasolooza b’omusolo eya Uganda Revenue Authority (URA) FC eyanjudde eyali emunyeenye yaayo Simeon Masaba.

Okusinziira kundagaano, Masaba yoomu ku bamyuuka b’omutendesi Sam Ssimbwa era nga kino wakukikola okumala emyaka esatu (3).

Masaba yegasse ku banne abalala okuli George Lutalo, Augustine Nsumba n’omutendesi wa bakwaasi ba ggoolo Stephen Billy Kiggundu.

Ng’omuzannyi, Masaba yali mu URA wakati wa 2010 ne 2016 era nga yawangulirayo ekikopo kya liigi wamu ne Uganda Cup bbiri.

Nga ojjeeko URA, Masaba yazannyirako SC Villa ne Police mu liigi ya Uganda.

Mungeri yeemu, Masaba yamala ebbanga ddene nga azannyira tiimu ye ggwanga eya Uganda Cranes.

Masaba yeegatta ku Onduparaka mu 2017 ng’omumyuuka w’omutendesi. Wabula, ebiseera ebimu abadde atera okukola nga omutendesi ow’ekiseera buli Onduparaka lwebadde nga egoba omutendesi omujjuvu.

Kunkomerero ya sizoni ewedde, Masaba yayabulira Onduparaka wabula nga okuva olwo, abadde agaaga naaga. Abaddeko ku UPDF wamu ne Wakiso Giant mukabanga akatasussa myeezi esatu (3).

Kigambibwa nti omutendesi Sam Ssimbwa yeyasiimye akole ne Masaba ekintu ne Henry Mayeku akulira emirimu ku tiimu ya URA kyeyawagidde.

Advertisements